TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obadde okimanyi nti butto ava mu miti ayanguya eddagala okukola-Mboozi za mukenkufu

Obadde okimanyi nti butto ava mu miti ayanguya eddagala okukola-Mboozi za mukenkufu

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2019

Obadde okimanyi nti butto ava mu miti ayanguya eddagala okukola-Mboozi za mukenkufu

Tip2 703x422

Butto akolebwa aba Prof Bioresearch okuva mu miti

TUZZE twogera ku bintu eby’enjawulo ng’ebimu byewuunyisa ate ebirala tebikkirizika okugeza ennyama ya ffene, okulunda enseenene n’ebirala. Abamu nga bawakana nti, tebisoboka wabula abajja mu musomo gwa ‘The Great Sundowner’ beerabirako ne bavaaawo nga bakkirizza nti bisoboka.

Wabula ffe aba Prof Bioresearch tukkiriza nti, ebirabika nga ebitasoboka bisoboka ssinga weewaayo okuvumbula. Mu kusala emiti abangi batunuulira mbaawo, wabula beerabira empumbu kyokka ng’eno evaamu butto gwe bayita DMSO oba Wood oil alimu emigaso egy’enjawulo.

Butto ono ajja atya? Butto ono Abazungu bamaze ebbanga ddene nga bamukozesa ku bantu, ebisolo n’ebirime. Jjukira nti, emiti gitambuza emirandira okutuuka mu bifo ebyewala mu ttaka ne gisika eminnyo egy’enjawulo. Bwe gisika ebiriisa bino gibitereka mu bikuta era ky’ova olaba bw’otema ku muti guvaamu amasanda agaziba ekiwundu era gano ge gaakolanga abaserikale abaziyiza obuwuka obuyinza okujja okugulya oba okugulwaza.

Naye omuti bwe gusalibwa, amasanda ago gakala ne gasigala mu bukuta bw’embaawo oba giyite empumbu. Okugeza emiti nga payini ne kalittunsi era wano we tuviiriddeyo okutandika okukamula butto mu miti gino. Ssinga tuteeka mu kyuma ng’ekikamula omwenge, tusobola okukenenulamu amasanda gano ne tukolamu butto.

Era ebyafaayo biraga nti, butto ono ow’embaawo yatandikira Russia. Olumu dokita yeerabira butto mu ddwaaliro, omusawo eyaddawo n’akawa ku mulwadde mu nsobi ng’alowooza amuwadde ddagala.

Dokita bwe yakomawo okukebera ku mulwadde ng’akubye ku matu n’amubuuza kye yamuwadde kwe kumulaga butto w’obukuta bw’embaawo okuva olwo ne bamutuuma ‘Russian Mistake’ (ensobi y’Omurussia) era okuva olwo ne lifuuka eddagala ery’amaanyi. Butto ono wano tusobola okumukola kubanga tulina emiti mingi ate abasalamala basala embaawo buli lukya.

Emigaso gya butto 1 Ayamba okutambuza eddagala mu mubiri, ssinga onywa eddagala naddala ery’ekinnansi liyinza obutatambula bulungi mu mubiri olw’obucaafu obubaamu. 2 Ayamba n’okutambuza ebiriisa mu mubiri, okugeza ssinga okamula akatunda osobola okutonnyezzaamu butto ono n’ayongeza okutambuza ebiriisa ebikalimu.

Ekiyamba eddagala okubuna omubiri kubanga alimu ekirungo kya ‘Sulphonyl’ ekiyamba okutambuza ebiriisa n’eddagala.

3 Ayamba okukkakkanya obulumi ng’aggyawo asidi mu nnyingo ne zirekera awo okukuluma.

4 Atoowolokosa ku kuzimba kw’omubiri naddala abo abalina ebizimba kubanga aggyawo obutwa, butto ono takolagana na kirungo kya ‘lactic acid’ atera okuzimbya obutoffaali. Wano era akola ne ku balina alusa, kuba aggyawo asidi amabwa ne gawona.

5 Alina emmeeme eya wansi oba obuzimba osobola okumusiigako bujja kugenda.

6 Bw’oba oyagala kuyingiza birungo mu mubiri, osobola okumusiiga ku kkundi n’ayingiza eminnyo egikendeeza asidi mu lubuto, naddala abo abatera okwebajjagala.

7 Ayamba okukuuma enkwaso nga tezoonoonese kubanga akuuma obutoffaali nga bulamu ekitegeeza nti, ssinga naawe omukuuma nga tayonoonese asobola okukuyamba okukuuma nga bulamu.

8 Atta obuwuka obuleeta kandida ate n’ayamba enviiri okuguma.

9 Ayamba ku buzimba mu byenda ne nnabaana, ajja kubayamba n’abalina enkovu ne ku biwundu nga weesaze.

10 Alina ekifu ku maaso mugatte ne butto w’ensogasoga omunywajja kukyozaako. Wabula butto ono teweetaaga kumukozesa ng’okozesa ebintu eby’obutwa kubanga ajja kubitambuza bibune mu mubiri gwo.

Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch asangibwa ku Equatorial Mall edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652. Emboozi z’omukenkufu Julius Nyanzi owa Prof bioresearch Butto akolebwa aba Prof Bioresearch okuva mu miti kozesa butto ava mu miti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...