TOP

Omukazi yadduka n’olubuto

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2019

Omukazi yadduka n’olubuto

Jip2 703x422

Isabirye

NZE Siraje Isabirye, mbeera Bweyogerere Kakajjo era ndi musuubuzi wa birime mu katale e Nakawa.

Nafuna omukyala omusawo okuva e Busia ne mmuwasa era ne twesuubiza okwekulaakulanya n’okubeera ffembi ebbanga lyonna wadde nga twali tetukoze mikolo mitongole gyonna.

Omukyala nnamala naye omwaka gumu n’afuna olubuto era lwali lwakaweza emyezi musanvu n’atabuka n’atandika okunnyombesanga buli bwe naddanga awaka. Lumu nagenda mu katale okukola kyokka kyambuukako bwe naddayo olweggulo ng’ennyumba yonna nkalu.

Baliraanwa ne bahhamba nti yaleeta emmotoka n’asiba ebintu. Okuva olwo siddangamu kumulabako kuba simanyi gye yaddukira. Yankubirako omulundi gumu ng’asaba obuyambi era n’antegeeza nti yazaala mwanamulenzi.

Nnamuweereza emitwalo etaano ku ssimu gye yankubirako kyokka bwe nnaddamu okugikubako nga teriiko n’okutuusa kati. Ekisinga okunnuma nti tewaaliwo nsonga ya maanyi wabula yatabuka lumu n’atandika okugamba nti simwagala kyokka nga buli kimu kyali kitambula bulungi. Nasooka ne ndowooza nti lubuto lwe lumutawaanya era nga mmanyi nti anaatereera ng’amaze okuzaala.

Ekisinga okunnuma kwe kuba nti omwana wange simulabangako kyokka omutima gunnuma. Waliwo oluusi lwe ndowooza okufuna omukazi omulala kyokka olulala ne hhamba oba nnindeko nga nsuubira nti anaakomawo. Kye ntya kwe kufuna omukazi omulala ate oli n’akomawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...