TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mutabani wa Kayiira avudde mu DP ne yeegatta ku NRM

Mutabani wa Kayiira avudde mu DP ne yeegatta ku NRM

By Hannington Nkalubo

Added 14th August 2019

Mutabani wa Kayiira avudde mu DP ne yeegatta ku NRM

Lut2 703x422

Sebastian Kayiira (ku kkono) ng'amaze okusala eddiiro ate u katono ye kitawe Lutaakome Kayiira

MUTABANI w’eyali omulwanyi Dr. Andrew Lutakome Kayiira eyatambulanga n’aba DP mu nkuhhaana z’ebyobufuzi nga babanja Gavumenti lipooti ekwata ku nfa ye, yeegasse ku NRM n’ategeeza agenda kubanja lipoota eno ng'abeegasseeko. Kyokka muganda we David Kayiira eyakwasibwa omudaali gye buvuddeko ku lwa famire y'omugenzi, ye tagenda kukikola.

Yategeezezza nti muganda we Sebastian Kayiira wa ddembe okusalawo okwegatta ku NRM bw'aba alabye nti, kimuyisaawo. “Kitaffe bye yakola balwanyi banne babimanyi era eddembe lye baalwanirira Uganda yalifuna.

Be yalwana nabo bwe baba balaba nti, eyo y'embeera famire yaffe gy'eteekwa okubeeramu ka tubeere bwe tuti era tetwagala bakitwale nti tubabanja", David Kayiira bwe yagambye.

Bwe yabadde alangirira, Sebastian Kayiira yaweerezza Pulezidenti Museveni ekiwandiiko nga kirimu ensonga ssatu okwabadde okusaba sikaala eri abazzukulu ba Kayiira, okuzimbirwa ennyumba n'okuyamba okuddaabiriza amalaalo ga kitaabwe. Ku Mmande aba NRM baakoze omukolo ku kyalo Kanzize, Kayiira gye yaziikibwa nga gyakuliddwa ssentebe wa NRM mu ggombolola y’e Masuliita Ssaalongo Muwadda Namwanja.

 

Ku mukolo guno Sebastian Kayiira yalangiridde nti abadde wa DP naye kati ayingidde NRM kubanga nabo tebalina kye bamuyambye. “Buli kiseera aba DP bajja wano naye n’amalaalo gayabise tewali yeevaamu kutuyambako", Sebastian bwe yagambye.

Yategeezezza nti asazeewo okwegatta ku NRM wadde nayo terina ky'ebayambye mu bbanga lya myaka 32 kitaabwe ng’afudde. Yagambye nti bamukakasizza nti bagenda kumuyamba singa abeegattako.

Ssentebe wa NRM e Masuuliita Muwadda Namwanja yagambye nti bagenda kusisinkana Pulezidenti bamwanjulire byonna era NRM egenda kutwala obuvunaanyizibwa ku maka ga mulwanyi munnaabwe Kayiira.

Namwanja yalumbye aba DP be yagambye nti bamaze ebbanga nga babuzaabuza famire ya Kayiira kyokka kati abaana bazuukuse ne bategeera abantu abatuufu be bateekwa okukolagana nabo. Kayiira yatemulwa nga March 6, 1987 era mu kyalo teyalekayo nnyumba ng'ebiseera ebisinga yabimalira mu lutalo lw'okununula eggwanga alyooka naye yeetereeze era mutabani

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte