TOP

Okuwamba abasaabaze kuzzeemu e Masaka

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2019

Okuwamba abasaabaze kuzzeemu e Masaka

Kap2 703x422

MU bbanga lya myezi mukaaga, abantu musanvu be baakagwa mu katego k’abatemu abeefuula abakola ogw’okusaabaza abantu mu mmotoka ezaabuyonjo mu bitundu by'e Masaka era abantu bana be banyazeeko ssente n'oluvannyuma ne battibwa ate abalala ne basimattuka. Akyasembyeyo okubagwamu ye Fred Tukahirwe ku Lwomukaaga.

Tuhakirwe emmotoka ekika kya Noah yamulondodde okuva e Katwe - Masaka gy’abadde asula, yamulonze mu kabuga k'e Kijjabwemi omulambo gwe ne gusuulibwa ku luguudo lw'e Viilla.

Shafic Mwanje ng’ono yasimattuka okuttibwa abasajja abaamujja ku siteegi ya Shell Buddu mu kibuga Masaka ng’agenda Kyotera, yategeezezza nti balina abantu bangi be bakolagana nabo ekibasobozesa okulondoola abantu ababa ne ssente.

Yayongeddeko nti oluvannyuma lw’okumwefuulira ne bamusiba omuguwa mu bulago baamusaba ssente era ze yalina n’azibawa ne bamulagira akubire omuntu yenna abaweereze obukadde 10 singa yali akayayagala obulamu, yabategeeza nga bw'atalina ssente ezo ne bamujjirayo ebiso n'ennyondo kyokka oluvannyuma ne bamusuula mu kitoogo ky'e Nabajuzi ku ludda e Kyotera.

Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka Paul Kangavve yalabudde abaatadde obupande ku mmotoka mu kifo ky’ebikuubo nti nabo tebajja kutalizibwa kubanga obupande buno busobola okuggyibwako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...