TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Obukulembeze bw’ennono bulina okweyambisibwa okutumbula enkulaakulana mu ggwanga'

'Obukulembeze bw’ennono bulina okweyambisibwa okutumbula enkulaakulana mu ggwanga'

By Dickson Kulumba

Added 14th August 2019

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agamba nti obukulembeze bw’ennono bulina okweyambisibwa okutumbula enkulakulana mu ggwanga olw’okubeera okumpi n’abantu saako okuwa amagezi Uganda etandike okulowooza ku ky’okuwa abaana ebeetu ly’okuyiiya n’okukozesa ebitone.

Ebibanjaomuganda17731 703x422

Bino byonna biri mu mboozi eyagudde amakerenda ng’anyumya n’omusasi wa Bukedde DICKSON KULUMBA ku myaka 26 egy’amatikkira ga Kabaka Mutebi II;-

Biki ebikoleddwa Obwakabaka okutumbula eby’enjigiriza?

Okusookera ddala okukubiriza obukubiriza abantu  nti basoosewaze eby’enjigiriza ndowooza nti ogwo mutendera munene. Kabaka atukubiriza emirundi egitamanyiddwa na muwendo  natulaga nti eky’okubugagga kyoyinza okulekera omwana,ku musomesa era abantu bangi bamwanukudde.

Amasomero mangi kabaka agatandiseewo okuviira ddala ku gasooka okutuuka ku gasembayo,abantu nebagagendamu ne babangulwa. Eky’okusatu, kabaka ayambye abaana bangi okuyita mu nsawo ya Kabaka education fund. Ndowooza nti ku ludda olwo Obwakabaka bukoze kinene ng’osanga singa obwakabaka tebwaliwo, omutendera gw’ebyenjigiriza gwetuliko sinnga tetuguliiko.

Ku by’obulamu, era obwakabaka bukoze kinene okusookera ddala mu kaweefube w’okutangira abantu endwadde era kino okirabira mu Kabaka okubeera emunyeenye y’ekitongole ky’amawanga amagatte mu kulwanyisa obulwadde bwa mukenenya,ekifananyi okifuna bulungi nti awo ali ku byabulamu.

Singa kabaka taliwo,tetwabibadde na misinde mubunnabyalo. Emisinde gino givuddemu okutumbula eby’obulamu okuli okulwanyisa okutonya mu bakyala,obulwadde bwa nnalubiri. Singa kabaka taliiwo osanga eby’okugemesa abaana byandibadde byanjawulo. Okukubiriza Nnabagereka gwakola eri abaana abawala obutafuna mbuto nga tebanetuuka kubanga bwebazifuna nga tebanetuuka ate bafunirayo endwadde. Ebyo byonna bisoboka kubanga obwakabaka webuli. Ndowooza tulina okweyambisa obukulembeze obw’ennono okulaba nti twongera amaanyi mu kaweefube gwetulina ow’amasomero tulina ey’okuzimba amasomero g’ebyemikono,tulina enteekateeka ngazi mu by’obulamu kubanga abantu ababangule obulungi nga basomeseddwa nga bafunye eby’enjigiriza eby’omulembe ate balamu, be babeera ab’omugaso mu mulembe guno omutebi.

Obukulembeze obw’ennono kyeki?

Obukulembeze bw’ennono kitegeza Ssabasajja Kabaka okutuukira ddala ku mukulembeze asembayo mu nteekateeka y’Obwakabaka. Abakulu b’ebika osobola okuboogerako okuviira ddala ku kasolya okutuukira ddala ku luggya.obwo bwonna bukulembeze bwa nnono.

Kabaka agonjoodde nnyo enkayana mu bika nnyingi. Emyaka mitono egiyise agonjodde emigozibano mu kkobe,engeye, Nakinsige,envubu okulaba ng’ebika binywera okutuukiriza obuvunanyizibwa bwaabyo.

Omulamuzi Ssekaana yalamudde bulungi mu musango gw’ekika ky’ekkobe bweyawadde abantu amagezi nti ensonga z’emisango gy’ebirina girina kusalibwa Kabaka kubanga ensonga z’ebika mu nnono zaffe Kabaka yazimala era omuntu bwayawukana ku ntereeza eyo, abeera afuuse kaasa,ayawukanye ku mugendo!

Ekyo kyetukubiriza abantu bonna. Kabaka yalagira buli kika kibeera n’embuga esala emisango muunda mukyo,eyo bweremwa ng’ogenda mu ddiiro lya katikkiro- kkooti ya kisekwa,bwova eyo ng’ogenda ewa Kabaka,bwegukumegga ng’ojjulira gyaali oba olyaawo yejjulule. Eyo y’entereeza gyetulina mu nnono ya Buganda. Toyinza kuba ng’okayanira bya nnono ng’ate byokola si bya nnono.

Ensonga y’eddwaliro okutumbula eby’obuamu eyimiridde etya?

Enteekateeka z’eddwaliro tuzirina naye kintu kinene. Twalowooza nti katusooke tukole obujjanjabi obusookerwako kubanga endwadde ezisinga ebitundu 70ku buli 100  zijja ku butabeera bayonjo nga Kabaka bweyabadde e Bugerere yakubiriza abantu okwemanyiza okunaaba mu ngalo n’ebintu ebirala. Tukola ensisira z’eby’obulamu era abantu nkumi na nkumi,bajjanjabwa nga bwetulinda obusobozi n’eddwaliro eddene lirizimbibwa.

Bangi mu kiseera kino balaba eby’enjigiriza byaffe ng’ebyetaaga okukyusa tudde ku masomo g’ebyemikono,okiraba otya?

Enkola gyetugoberera mu by’ebyenjigiriza gavumenti eyawakati yegibangawo era enkola eriwo kati ya mwana kufuna 100 ku 100. Kituufu bangi balowooza nti sinnungamu. Omwana bwakwata ebintu obukusu  n’ayita, kiyinza okumubuzaako kyeyekolera oluvanyuma. Kati ekiri mu nsi ku ludda olw’ebyenjigiriza kwe kulekera abaana ekyaanya okuba abayiiya. Singa otunulira tekinologiya gwetulina ensangi zino ng’ebyuma kalimagezi, omutimbagano, emikutu gimukwanira, enkola ya mobile money,bivudde mu buyiiya si kugamba nti ababiyiiya,balina diguli.

Obuyiiya singa ogenda e katwe, ebyuma ebyo byebaweesa bisobola okubeera ku ddaala ly’ensi yonna nga babulamu okuwawulwa-finishing. Singa wetegereza ababazzi ng’oli bwakubajjira akammeza tojjula n’olowooza nti bivudde bulaaya.

Gavumenti eyawakati esaana okutandika okulowooza ku ky’okuvumbula ebitone,bwe bivumbulwa nebitumbulwa okusinzira ku ngeri abayizi gyebatendekebwamu. Kati ensoma ey’abaana okukwata obukusu egenda eddiba kakati wetwogerera, ebintu bikalimagezi mu nsi nnyingi, ekimu kisobola okukola emirimu gy’abantu 10. Abantu abayiiya pulogulamu ebyuma ebyo kwebikolera n’ababiweesa bafuna ensimbi nkumu. N’olwekyo tulina okulaba engeri ensi bwegenda ekyuka. Obwakabaka busobola okubeerako kyebukola naye kirina okutandikiraku gavumenti eyawakati kubanga yevunanyizibwa ku kyusa eby’ensoma y’eggwanga.

 Bwekityo tulina okutandika okulekera abaana ekyaanya okuyiiya n’okutumbula ebitone. Basobola okutandika okuwa omwana eyayiiyiza ekintu oba alina ekitone mu kintu obubonero nga bwebuweebwa amaanyi oluzungu n’abalala.

Waliwo abalina endowooza nti bajjajja abakulu b’ebika tobalabawo ng’enjogera y’ennaku zino bweeri,Buganda ogitambuliza ku basuubuzi. Obutuufu bwa kino buli butya?

Ekyo si kituufu n’akamu. Nkugambye nti Kabaka agonjodde ensonga nnyingi mu bika. Ensonga zagonjoola ziyitamu mikono gyange, nkyadde ku butaka bw’ebika obw’enjawulo,awo mbeera ntumbula bika,ntambudde n’abataka emitala w’amayanja nga njagala basisinkane abazzukkulu baabwe nga nziggyayo obukulu bw’ebika. Sirowooza nti eriyo omuntu akuliza ekika nga nze. Njogera kimu bibiri nga njogera ku kika kuba bwoyogera ku mutima ng’omulala ayogera ku ndiga. Era ndowooza nti ebika bivuddeyo nnyo olw’ekyo. Twakola ebibumbe biibyo ku Kabakanjagala,okwagala okuggyayo obukulu bw’ebika. Omuntu ayogera ekyo abeera tagoberera nsonga.

Abakulu b’ebika emirimu gyaabwe wegiri mirala,abasuubuzi nabo egyaabwe mirala sirowooza nti abakulu b’ebika bandikoze egy’abasuubuzi. Katugambe nanditambudde n’abakulu b’ebika netugenda eyo mu byalo okunoonya ettofaali. Abakulu b’ebika batulambika mu nnono ne ofiisi yaabwe tugitaddeko amaanyi. Okutwalira awamu ndowooza ebika biyitimuse nnyo emyaka gino.

N’ekirala kyensobola okwongera okukunokerayo, kwe kulanya ewa Kabaka. Enteekateeka zino Katikkiro azibeeramu. Ebika nasanga byali bimaze emyaka 10 nga tebiranya.

Ebika byandikoze ki okwezimba?

Bisanye okubeera n’obukulembeze. Nga birina Katikkiro n’akakiiko akafuzi akaammanyi. Balina ebiwandiiko n’enteekateeka ez’okugenda mu maaso okuli okulambula abazzukkulu. Ebika bitandise okukola enteekateeka z’enkulakulana.

Twagala ettaka lyonna ery’ebika libeere mu nkiiko z’abayima. Bayinza okujja ofiisi ya Ssabawolereza wa Buganda nebayambako olw’okusobola okukuuma n’okutaasa  ettaka olw’emirembe egirijja.

Eby’ensowole biyinza okukomezebwa bitya?

Bwotunulira ebyafaayo,edda n’edda wabaddewo ab’eggwanyiza kyokka okuyita mu mbuga ezirina okuteekebwa mu bika, zezinagonjola enkayana zino naye okwegwanyiza n’ensowole bizibu bya kumalawo. Naye byonna Kabaka amala ensonga naziyingiramu, nazitereeza.

Kabaka Okulambula obutaka bw’ebika kirimu makulu ki?

Okusooka abazzukkulu bangi tebalamaga ku butaka bwaabwe. Bwe batalambula ebika binafuwa n’obutaka okwagala okusanawo. Kabaka bwalambula obutaka bw’ebika,kiwalirizza abazzukkulu nabo okuddamu okulamaga

Kinyweza obumu kubanga kabaka bwaba analambula, ab’ekika balina okwekwanyakwanya bamulambule.

Kikuuma ettaka naddala ng’abo abaagala okunyaga ettaka ly’ebika nga batya oluvanyuma lw’okumanyira ddala nti obwo bwe butaka bw’ekika ekyo.

Kireetayo enkulakulana ku butaka kubanga  Kabaka gyalambula,beeteekateeka.

Kyongera okuggumiza obukulu bw’ebika  kubanga Buganda erukibwa bika n’olwekyo Kabaka bwabirambula abeera akkatiriza obukulu bw’ebika ng’erimu ku ssiga okutudde obwakabaka.

Obubaka bwo obusembayo eri abantu ba Buganda:

Nkulisa nnyo ssabasajja kabaka ng’ali ku nnamulondo ya Buganda. Olugendo lubadde luwanvu lubaddemu obuwonvu n’ebiko naye okutuusa leero mukama atubedde. Tetulema kwebaza kabaka olw’engeri gyatulambiseemu okuleeta enkulakulana, okuyamba abavubuka okuvaayo. Nebaza nnyo abantu ba Buganda abataweera okulaba ng’Obwakabaka butambula. Okuyimirizaawo Obwakabaka emyaka 26, awatali musolo gusolozebwa mu ngeri ntongole, tekibadde kintu kya kuzanya okuggyako ng’oli agamba nti atamukutte. Omulimu munene,mulimu muzito  naye Abaganda n’emikwano gyaffe batuwagidde netubeerawo netukola ebyo ebitugasizza emyaka 26 ate n’emyaka egirijja. Awo obuganda bwonna mbwebaza n’abantu bangi abatalina baganda betutambudde nabo era ndowooza ekyo kirungi mu kugatta eggwanga lyaffe Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...