TOP

Bbanka eyogedde ku ky'omulwadde eyatwaliddwayo okuggyayo ssente.

By Martin Ndijjo

Added 14th August 2019

Bbanka yewoozezzako ku ky'omulwadde omuyi eyatwaliddwayo okuggyayo ssente z'obujjanjabi.

Mwanje1 703x422

Mwanje ku katanda (ku kkono)

Aba Bbanka ya Equity bavuddeyo ku nsonga z’omulwadde eyatwaliddwa mu bbanka nga muyi assiza ku  byuma okufuna ssente z’obujjanjabi, bagamba nti abafamire be baamusitudde okumutwalayo ng’ali mu mbeera eno.

Ebifaananyi by’omugagga, John Dhamuzungu Mwanje omulwadde omuyi assiza ku byuma ng’ali ku katanda bamututte mu Bbanka ya Equity ku ttabi ly’e Wandegeya okufuna ssente z’obujjanjabi ebyasaasaanidde ku mikutu gya ‘Social media’, n’okutuusa kati bikyayogeza abantu ebikankana nga n’abamu beebuuza lwaki ddala kino kyakoleddwa okulumya n’okutaataaganya omulwadde ali mu mbeera eno.

Mwanje omutuze w’e Kyebando ng’alina amaka e Nalya ne Kisowera mu Mukono ssaako amayumba g’abapangisa ag’ebbeeyi (apartments) mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo amaze ebbanga nga mulwadde atawaanyizibwa obulwadde bw’omutima.

Wiiki bbiri eziyise yaweereddwa ekitanda mu ddwaaliro lya Norvik ng’ali mu mbeera mbi. Oluvannyuma baasazeewo okumwongerayo mu ddwaaliro lya Nakasero okufuna obujjanjabi obusingawo.

Omu ku baana ba Mwanje ataayagadde kumwatuukiriza mannya agamba nti, eddwaaliro lya Norvik lyabadde libanja obukadde 14 kwe kusalawo bagende mu bbanka bafune ssente okuva ku akawunti y’omulwadde basobole okumusiibula, wabula baasanze obuzibu mu bbanka bwe baagaanye okubawa ssente nga bagamba nti, baagala mulwadde y’alina okubalagira.

Ayongerako nti, wadde baagezaako okubannyonnyola embeera omulwadde gy’alimu ne basindika n’abakozi ba bbanka mu ddwaaliro okukakasa kye boogerako aba bbanka ne bamukuba n’ebifaananyi,

bano era baagenze mu maaso n’okugaana okubawa ssente ekyabawalirizza okuyisa omulwadde mu bbanka yeggyireyo ssente ze ku Lwomukaaga bwe baabadde bamutwala mu ddwaaliro ly’e Nakasero kati gy’ali era embeera ye tennatereera.

Wabula Philip Otim, omwogezi wa bbanka eno bwe yatuukiriddwa  ku ssimu yasoose kutegeeza nga bwe bali mu nteekateeka y’okufulumya ekiwandiiko ekitongole ku kyabaddewo.

Oluvannyuma mu kiwandiiko kye baafulumizza ku Lwokubiri akawungeezi bano baalaze nti, wadde aba famire babadde babategeezezza ku mbeera y’omulwadde, wakati mu kusala amagezi okulaba eky’okukola, aba famire baasitudde omulwadde ne bamuleeta mu bbanka kye baagamba nti si ky’ekituufu ekyabadde kirina okukolebwa kubanga bo bawa bakasitoma baabwe ekitiibwa.

Bukedde era yakitegeddeko nga aba bbanka bwe baasisinkanye n’aba famire ku ddwaaliro e Nakasero okutereeza embeera oluvannyuma lw’ekyo ekyabaddewo n’ebitambula ku mikutu gya ‘Social media’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye