TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Kusasira bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa nga tategedde.

Kusasira bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa nga tategedde.

By Martin Ndijjo

Added 15th August 2019

Catherine Kusasira bamukoledde akabaga k'amazaalibwa ne yeewaanye nti ye muyimbi yekka omukyala atalimba myaka.

Kusasira6 703x422

Kusasira wakati n'abawagizi be nga basala keeki

Kusasira bamukoledde akabaga k'amazaalibwa ne yeebaza katonda olw'ekirabo eky'obulamu

Mikwano gye  n’abawagizi (Team Catherine Kusasira) nga bakulembeddwamu maneja we Aminah Nansubuga  ne Hady Kimera be baamukoledde akabaga kano.

Baamuleese tategedde nga bamulimbye nti, alina ddiiru y’okuyimba gy’alina okukuttula era abagala okumupangisa bali ku bbaala ya Mirano e Makindye kyokka bwe yatuuse ku bbaala okuyingira munda mu bwangu obw’amaanyi, mikwano gye abaabadde beekwese, baafubutuse yo ne bamuyimbira ennyimba ez’amazaalibwa n’okumufuuyira ebintu mu maaso n’abuula okukaaba olw’essanyu.

“Emyaka 38 si myangu okuweza era nebaza Katonda nti ndi mulamu kubanga abantu bangi bafiiridde ku myaka emito. Abantu abasinga balowooza bw’okula oba okaddiye naye njagala okubabuulira nti ku gino emyaka omuntu kwatandikira okutegeera obulungi by’akola kati nze nsumuludde ...”  

Bwatyo Kusasira bwe yagambye ne yeewaanye nti ye muyimbi yekka atalimba myaka n’agattako nti Katonda yamutonda bulungi kubanga asinga n’abalina 20 okunyirira.

Akabaga kabaddewo ku Lwokusatu ekiro era oluvannyuma yasaze kkeeki gye yagabudde abawagizi be.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...

Tuula 220x290

Mukwano gwange yansigulak

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange...

Funayo1 220x290

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba...

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba...

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...