TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyayimba oluyimba oluwabula Pasita Bugingo aliira ku nsiko

Eyayimba oluyimba oluwabula Pasita Bugingo aliira ku nsiko

By Scovia Babirye

Added 15th August 2019

Eyayimba oluyimbaa oluvumirira Paasita Bugingo aliira ku nsiko, bamutiisatiisa okumukola akabi.

Jacksontalemwa 703x422

Talemwa

Jackson Talemwa eyeeyita Cool Dee eyayimba oluyimba oluwabula Paasita  Bugingo okukomya okujolonga abakyala,  alaajanidde poliisi emuyambe ku  bamutiisatiisa .

Ono agamba nti baakamusuulira ebibaluwa bikirokitwalamunaku bibiri awaka we nga biwandiikiddwaako nti, ‘’ekyakuvumisa omusumba waffe ojja kukinnyonnyoka’’.

Ayongerako nti olulala yali ava mu bbaala emu e Bweyogerere, abavubuka musanvu ne bamutaayiza ne bamugamba ekintu kye kimu .

Ono yagguddewo omusango ku poliisi y’e Namugongo ku SD/REF 34/09/8/19 wabula agamba nti wadde waliwo okutiisibwatiisibwa ye tajja kuva ku mulamwa gwa kuwabula bantu kuba teyali musanyufu na ngeri Paasita Bugingo gye yajolongamu ekitiibwa ky’abakyala.

Oluyimba lwe luno luvumirira Bugingo olw’okuvvoola ekitiibwa ky'abakyala bannakazadde b'eggwanga abakuza buli muntu n'okwanika obuziina bwa maama w'abaana gw’abadde naye ebbanga eddene .

Era lwoleka obutali bumativu eri omusumba gw’agamba nti yandibadde kyakulabirako ng'abuulirira n'okukuuma ebyama bye.

 

Oluyimba era lukowoola n'abakyala abakulu mu ggwanga okuli Sipiika, Nnaabagereka, Mukyala Janet  Museveni n'abalala okuvaayo okulwanirira eddembe ly'abakyala kuba nabo kibatwaliramu. Ono era alaga Bugingo, omusumba omutuufu bw’alina okweyisa ne bw’aba asazeewo okwawukana ne mukyala we .Ono ye era ye yayimba n'oluyimba lwa Abiriga ng'avumirira abaamutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...

Mushroomscanbeeatenfreshwebuse 220x290

Lya obutiko okuzimba obwerinzi...

Ensonga 4 lwaki olina okulya obutiko