TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakulembeze balaajanidde KCCA ku butonde bw'ensi

Abakulembeze balaajanidde KCCA ku butonde bw'ensi

By Vivien Nakitende

Added 15th August 2019

Abatuuze beekyaye ne bamenya ekikomera ky'omugagga e Kabowa lwa kuzimba ku mwala

Ntobazzi1webuse 703x422

Kansala Ddamba (mu ssuuti) n'abakulembeze abalala nga balambula emyala mu Wankulukuku

Bya VIVIEN NAKITENDE

Abakulembeze b’ebyalo mu Lubaga balaajanidde KCCA ku butonde bw’ensi obwonoonebwa olw’abaggagga abazimba mu myala n’entobazzi. Beekokkodde bamusigansimbi  abeefuula abaleese enkulaakulana, ne baleka nga boonoonye ebitundu byabwe.

Baabadde mu lukiiko olwayitiddwa kansala Ismail Ddamba Kisuze owa Lubaga III mu KCCA, okwogera ku butonde bw’ensi n’obuyonjo bw’ebitundu byabwe.

Lwatudde oluvannyuma lw’omugagga Kalungi alina ekkolero ly’obuveera mu zooni ya Ssembule ‘B’ e Kabowa, eyabadde azimbye ekikomera mu mwala gwa Nalukolongo Channel, wabula abatuuze ne bakimenya nga bagamba nti, kigenda kubakosa ssinga kiziba omwala.

 lutobazzi olusendeddwa e ankulukuku Olutobazzi olusendeddwa e Wankulukuku

 

Balambudde ebifo eby’enjawulo omuli emyala n’entobazzi ebyonooneddwa, nga bino bagamba bye bivuddeko amataba okweyongera mu bitundu by’e Lubaga eby’enjawulo, nga waaliwo ebitundu ebimu abagagga abaazimba ne bakyusa amakubo g’emyala ate entobazzi nazo ne bazizimbamu nga kati amazzi tegakyalina we gayiwa.

Wano bassentebe we baasinzidde ne basaba Gavumenti ebongere obuyinza, nga tewali muntu yenna akkiriza kuzimba mu kitundu ng’olukiiko lw’ekyalo terukkiriza oba ddala w’agenda okuzimba wagwanidde.

 ano olutobazzi balukubiramu bbulooka Bano olutobazzi balukubiramu bbulooka

 

Edmikes Tagoya, Ssentebe wa zooni ya Ssembule ‘B’ agamba nti, ebifo eby’enkizo ng’emyala n’entobazzi bingi bizimbiddwamu lwakuba abazimbamu bajja n’ebiragiro okuva waggulu, nga bassentebe ne bwe babagambako tebabawuliriza kubanga tebalina buyinza.

Kansala Ddamba, agambye nti akizudde nga bamusigansimbi be basinze okwonoona obutonde bw’ensi mu kitundu, nga bajja ne bagula ebyalo ne basasula abantu abaliwo, ne bakolerawo bye baagala omuli abayiwa ettaka emyala gye basanze mu kifo ekyo gyonna ne bagiziba ekikosezza abantu.

 kifo abakulembeze we baalambudde nga waliwo nebikondo Ekifo abakulembeze we baalambudde nga waliwo n'ebikondo

 

N’agamba nti, basazeewo omuntu yenna okujja mu kitundu okuzimba alina okuba ng’alina pulaani okuva mu KCCA oba olukusa lwa NEMA, okumuyisa mu kasengejja k’ekyalo, bwe balaba nga waliwo ebyetaaga okukyusibwa, alina okubituukiriza era tajja kukkirizibwanga kwonoona bitundu, abatuuze kye baawagidde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...