TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulamuzi Kakuru anenyezza abeetuumako ebyobugagga ebisusse

Omulamuzi Kakuru anenyezza abeetuumako ebyobugagga ebisusse

By Ali Kizza

Added 19th August 2019

Omulamuzi Kenneth Kakuru alumbye abantu abasussa okwagala ebyobugagga ne babyetuumako nga n'ebimu tebabifuna mu makubo matuufu.

Omulamuzi wa kkooti y’oku ntikko, Kenneth Kakuru asiimye nnyina okubakuza nga si baluvu ekibayambye okukula nga tebeetuumako bya bugagga omuli n’ebitali byabwe.

Bino yabyogeredde ku mukolo gw’okujagulizaako nnyina Canon Roza Kamuzanguzi  okuweza emyaka 100  mu maka ge e Rwebishuri.

Yatenderezza bakadde baabwe okubakuza nga bamanyi ennaku n’anenya abantu ensangi zino abeetuumako ebyobugagga; n’abuuza nti ddala kiki ekituusa omuntu okugeza, okuba n’emmotoka empitirivu awaka n’amayumba!

Yagambye okukuzibwa mu mbeera bw’etyo kimuyambye okuba omwetowaze n'okuba n'emikwano.

Yagasseeko nti baazaalibwa abaana 13 kyokka basigadde bana bokka.

Waasooseewo kusaba okwabadde mu kkanisa ya Eden International School  mu kibuga Mbarara. Okusaba kwakulebeddwaamu Ssaabalabirizi Stanley Ntagali ate okubuulira ne kukolebwa Omulabirizi wa West Ankole,  Rev Canon Johnson Twinomujuni.Omukolo gwetabiddwaako abalamuzi abasoba 20  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kenzo 220x290

Kenzo alayidde obutaddamu kuyimbira...

Muzaata bwataneetondera sidda ku siteegi-Kenzo

Bukedde TV Live Stream

Bukedde TV Live Stream

Bk 220x290

Bukedde TV Live Stream

Laba wano Bukedde TV Live

Bukedde Tv Livestream

Bukedde Tv Livestream

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...