TOP

Omuserikale asse abeebijambiya 2

By Musasi wa Bukedde

Added 19th August 2019

Omuserikale asse abeebijambiya 2

Pop1 703x422

Ekikomera ababbi we baabatidde. Mu katono ye Kasibante eyabakubye amasasi.

ABABBI baabadde bataano nga bakutte ebijambiya ne makansi ezisala ebyuma ze baakozesezza okusala enzigi. Baawalampye ekikomera e Nansana ne bagwa munda okubba.

Ekikomera baalowoozezza nti kya bagagga abaabulijjo. Tebaategedde nti nnyini kikomera ofiisa wa poliisi omutendeke. Baasaze oluggi ne bayingira ne basiba ebintu ebikalu ne ssente.Ofiisa bwe yategedde nga bamulumbye n’aggyayo emmundu n’abakubamu amasasi ne badduka.

Amasasi gaakutte babiri abadduse ekiwalazzima ne bafiira ebweru w’ekikomera. Abalala basatu badduse n’omunyago n’okutuusa eggulo poliisi yabadde ekyabayigga. ASP Denis Kasibante nga y’akulira ekibinja kya Field Force Unit (FFU) e Nansana ye yasse ababbi abaamulumbye ku ssaawa 4:00 nga bukya ku Lwomukaaga. Emirambo gyasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi ate mu kikomera baabasuuzizza makansi ezisala ebyuma. Emirambo gyatwaliddwa e Mulago.

Afande Kasibante abeera e Nansana ku luguudo lw’e Nabweru yannyonnyodde nti baasaze ddirisa mwe baayise okuyingira. “Nnabawulidde bali munda ne mmanya nga babbi. Saapapye ku bang’anga. Baabadde n’ebisumuluzo (master keys) bye baakozesezza okuggula oluggi okufulumizaamu ebintu.Baasokedde ku ttivvi gye nnateeka ku kisenge ne bagisumulayo.

Nabawulidde nga boogera ne mmanya ekifo we bali. Baabadde boogerera waggulu nti gwe tulabako tumutemako omutwe. Ekyo bakikozesa okutiisa ababawulira bye boogera.“ Ng’omuserikale omutendeke ate amanyi obulungi enju yange nnafunye ekifo we nsobola okubalumba okubakuba obulungi.

Nabakubyemu amasasi ne badduka okufuluma”, bwe yategeezezza. Yagambye nti okubakuba amasasi yabadde yeetaasa kubanga nabo baabadde n’ebissi. Baatutte ebintu ebikalu ne ssente z’ataayogedde muwendo. Kyokka bwe baafulumye ekikomera, ababiri we baafiiridde. Abalala badduse n’omunyago. Nasser Mugwanya naye abeera mu kikomera kino yagambye nti okuvuga kw’amasasi kwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.