TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti Museveni ne Kagame bagenda kuddamu okusisinkana ku by'obutakkaanya

Pulezidenti Museveni ne Kagame bagenda kuddamu okusisinkana ku by'obutakkaanya

By Muwanga Kakooza

Added 19th August 2019

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana oluyinza okuyamba amawanga gombi okutuuka ku okumalawo obutakkaanya obwatuusa ne Rwanda okuggala ensalo zaayo ne Uganda

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame  enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu  okusisinkana mu Angola  mu lukung’aana oluyinza okuyamba amawanga gombi okutuuka ku okumalawo obutakkaanya obwatuusa ne Rwanda okuggala ensalo zaayo ne Uganda.

  Rwanda yaggala ensalo zaayo ne Uganda mu February 2019   n’egaana ebyamaguzi bya Uganda okuyingirayo . Yagenda maaso n’okugaana bannansi baayo okuddamu okujja mu Uganda ng’egamba nti batulugunyizibwa era bangi bali mu makomera. 

Rwanda erumiriza  Uganda okubudamya  abantu abagisekeeterera   era  nti  eddobonkanya  ebyenfuna bya Rwanda.

  Bino Uganda ezze ebyegaana n’egamba nti ssi bituufu n’egamba nti bannansi ba Rwanda abakwatibwa  baba bamenye amateeka ga Uganda.

Wabula  emikutu gy’amawulire egitali gimu nga gyesigama ku kuwandiiko ekyafulumiziddwa  Pulezidenti wa Angola , João Lourenço gyategeezezza nti Pulezidenti Museveni , ne  Kagame nga bali  wamu  ne Felix  Tshisekedi owa Congo baabadde bagenda kusisinkana mu Angola enkya ku Lwokusatu  mu lukiiko  olusuubirwa okuyamba Uganda okutuuka ku kukkaanya ne Rwanda.

Ensisinkano eno egenda kwetabwamu abakulembeze ba Congo Tshisekedi  ne Pulezidenti wa Angola Joao Lourenco eyawoma omutwe mu kutabaganya abakulu bombi.

Ensisinkano y’enkya eddiridde okusisinkana kw’abakulu bano okwaliwo nga  July 12, nga kwali mu lukiiko olwayitibwa Pulezidenti wa Angola  Lourenco nga lwetabwamu ne Pulezidenti wa  Congo Tshisekedi .

Olukiiko luno (olwa July)  lwagendererwamu okumalawo obutakkaanya bw’amawanga Uganda ne Rwanda era nga lwayogera ku byokwerinda n’okunyweza emirembe n’enkolagana y’amawanga gano ana.

Omwogezi wa Pulezidenti Museveni, Don Wanyama yategeezezza olupapula lwa New Vision nti Pulezidenti Museveni kituufu agenda mu lukiiko e Luanda mu Angola kyokka  n’agamba nti takakasa oba eby’okukkaanya wakati wa Uganda ne Rwanda binaateesebwako oba nedda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup