TOP

Mzee Kifansalira owa NRM bamugoba mu nnyumba

By Musasi wa Bukedde

Added 20th August 2019

KAKUYEGE wa NRM mu Bwaise, Isabirye Musa amanyiddwa nga “Kifansalira” asula ku tebuukye olwa landiroodi we okumulaalika okumugoba mu nju lwa bbanja lya myezi musanvu.

Isabirye1 703x422

Isabirye ng’alaajana.

KAKUYEGE wa NRM mu Bwaise, Isabirye Musa amanyiddwa nga “Kifansalira” asula ku tebuukye olwa landiroodi we okumulaalika okumugoba mu nju lwa bbanja lya myezi musanvu.
 
Isabirye 74 ow’omu Kimombasa mu Bwaise nga eyali kakuyege mu kusaggulira banna NRM akalulu mu kulonda okw’enjawulo y’asuliririra okukasukwa ebweru ne bazzukulu be 7 olw’okubulwa ezoobupangisa.
 
Ono agamba nti okulonda kwa 2006 nga kuwedde, waliwo abaamuteega mu mmotoka ye gye yali ateekangako essanja ng’alaga obuwagizi bwe eri NRM ne bagyonoona wabula
Pulezidenti Museveni n’amusuubiza okumudduukirira ky’atannakola.
 
Ono bakira ayogera n’ebiyengeyenge mu maaso, yannyonnyodde nti yagezaako okutuukirira abakulu naddala mu Kawempe wabula ne bamwesamba.
 
Asabye pulezidenti Museveni okumujjukira kuba talina na ky’aliisa bazzukulu be.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.