TOP

Bamafia baagala kunzita - Anite

By Musasi wa Bukedde

Added 20th August 2019

MINISTA omubeezi avunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi, Evelyn Anite avuddeyo n’alaajana ku bamafia abaagala okumutta, era wakuggulawo omusango ku poliisi essaawa yonna.

Aniteweb 703x422

Anite

Bya JALIAT NAMUWAYA
 
MINISTA omubeezi avunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi, Evelyn Anite avuddeyo n’alaajana ku bamafia abaagala okumutta, era wakuggulawo omusango ku poliisi essaawa yonna.
 
Anite yategeezezza bannamawulire nga bwaliko abamulondoola n’abalumika amasimu ge era nga bano bamutade ku bunkenke obutagambika.
 
“Nga bwe batta omugenzi Ibrahim Abiriga nange bwe baagala okunzita naye sijja kusirika “ Anite eyabadde ayogeza obuvumu bwe yategeezezza.
 
Yagambye nti abamutiisatiisa baagala ave mu kulondoola emivuyo egy’etobese mu kkampuni y’amasimu eya UTL ye kyagambye nti kikafuuwe si wa kukikola okutuusa ng’amaze okwanika abanene mu gavumenti abali emabega w’okwagala okugisanyaawo.
Yagambye nti enkiiko z’okumutta zituula mu bifo okuli Kampala Club.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.