TOP

Obubenje bwatuze 32 mu wiikendi

By Samuel Balagadde

Added 20th August 2019

OMUWENDO gw’abantu abaafi­iridde mu bubenje obwaguddewo ku Ssande gulinnye nga baweze 32.

Fire1 703x422

Abajaasi nga bawenja emirambo mu mafunfugu e Rubiriizi.

Bya SAMUEL BALAGADDE NE ALI WASSWA

OMUWENDO gw’abantu abaafi­iridde mu bubenje obwaguddewo ku Ssande gulinnye nga baweze 32.

We bwazibidde eggulo ku Lwokubiri ng’abantu 22 be baakakasibwa nti baatokomokedde mu muliro ogwakutte lukulu­lana y’amafuta eyabadde egenda e Congo kyokka n’eremererwa omugoba waayo ng’etuuse ku kyalo Kyambula ekisangibwa e Rubiriizi.

Yawanuse waggulu ku kasozi n’esaabala mmotoka za buy­onjo ezimu nga zirimu abayizi b’amasomero abaabadde bagenda okulambula ekkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth.

Omuliro gwakutte ne gwokya abaabadde mu mmotoka nnya, amaduuka n’ebizimbe ebiriraany­eewo.

Abamu baasirisse nga tebakyaso­bola kutegeerekeka ate ne gusaa­nyaawo n’emmotoka y’amafuta yonna.

Akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga, Dr. Steven Kasiima ya­gambye nti kyabadde kibi nnyo ku kabenje kano kubanga kaaguddewo mu kiseera nga tewali ayamba.

Kyokka yategeezezza nti dereeva teyakoze kimala kutaasa bantu baabadde ku luguudo olwo.

“Yabadde asobola okuwugula lo­ole eyo wadde ng’egaanye okusiba n’agitunuza mu kifo ekirala awatali mayumba wadde abantu abangi naye teyakikoze.” Kasiima bwe yagambye.

Yagambye nti ku kabenje ka bbaasi ya YY, mwafiiriddemu abantu 10 ekyalaze nti mu Uganda tukyalina okusomoozesa kunene ku bubenje obugwa ku nguudo.

Bbaasi ya YY yabadde eva Kam­pala ng’egenda Mbale ku Ssande n’etomera takisi. Dereeva wa takisi nnamba UAV 689E eyabadde agezaako okuyisa mmotoka endala nga teyategeerekese.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana