TOP

Kabaka asibiridde Abaganda entanda

By Dickson Kulumba

Added 20th August 2019

SSAABASAJJA Kabaka Ronald Mutebi agguddewo Olukiiko olw’omulundi ogwa 27, n’akubiriza Obuganda okussa mu nkola enkola y’obwegassi n’okulima emmwaanyi bye yalagira ku Matikkira ge og’omulundi ogwa 26 agaali ku yunivaasite y’e Nkumba.

Kabaka1 703x422

Kabaka ng’ali n;omumyuka wa Pulezidenti Edward Ssekandi ku madaala ga Bulange. Ku kkono ye Katikkiro Mayiga ne Nnabagereka Nagginda (ku ddyo).

Bya DICKSON KULUMBA
 
SSAABASAJJA Kabaka Ronald Mutebi agguddewo Olukiiko olw’omulundi ogwa 27, n’akubiriza Obuganda okussa mu nkola enkola y’obwegassi n’okulima emmwaanyi bye yalagira ku Matikkira ge og’omulundi ogwa 26 agaali ku yunivaasite y’e Nkumba.
 
Yayogedde ku nsonga nnya okuli okwebaza abateekateeka emikolo gy’Amatikkira egy’omwaka guno, gye yasiimye nti gyamusanyusa nnyo, ensonga ey’okubiri kwabadde kwebaza bakulu ba bika ku butaka gye yalambula olw’enteekateeka ennungi.
 
Ensonga eyokusatu, okuggumiza ekyokulwanyisa obwavu mu Buganda nga tuyita mu kulima emmwaanyi n’ebirime ebirala eby’ettunzi era abantu batandikewo ebibiina by’obwegassi.
 
Ensonga ey’okuna yabadde ya kwebaza abantu abateeka ekifaananyi kya Ssekabaka Muteesa II mu nnyumba gye yasulangamu mu kibuga London n’akubiriza abo bonna abafuna omukisa okugendako e London bayitengako mu kifo kino balambule ku nnyumba eno balabe Ssekabaka Muteesa embeera gye yayitamu.
 
Omukolo gwajjumbiddwa era mu bimu ku byakoleddwa, kweyanza bwami. Mu bamu ku beeyanzizza obwami muli David Kyewalabye Male ng’ono minisita w’ebyobuwangwa, ennono, embiri n’olulimi Oluganda.
 
Omulala eyeeyanzizza ye Christopher Bwanika ng’ono ye Ssaabawolereza wa Buganda era minisita wa gavumenti ez’ebitundu ne Abas Nsubuga ng’ono ye mubaka wa Kabaka United Arab Emirates nga bonna beeyamye okubeera abawulire.
 
Katikkiro Charles Peter Mayiga yakulisizza Kabaka okutuuka ku myaka 26 ng’alamula Obuganda era mu bbanga lino awadde abavubuka essuubi nga y’ensonga lwaki ensangi zino bajjumbidde nnyo emirimu gy’Obwakabaka.
 
Yayogedde ku kya Kabaka okukendeeza ku bungi bwa baminisita be n’agamba nti oluvannyuma lwa kino okukolebwa. Mu kiseera ekitali kye wala, ebibala bijja kutandika okulabika.
 
Yategeezezza nti mu kiseera ekiyise, Buganda efiiriddwa abantu bangi abakulu okuli; Haji Kaddu Sserunkuuma eyali Sipiika, Kaaya Kavuma, David Ssekyeru (Kayima), ne Abusolomu Bwanika Bbaale eyaliko mmembe w’Olukiiko n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...