Bya HANNINGTON NKALUBO
ABASUUBUZI b’ente mu lufula esangibwa ku luguudo lwa Port Bell batabuse ne basalaasala amaliba n’okusuula emisanvu okutangira mmotoka ezigatwala nga beemulugunya ku bbeeyi eya wansi kwe bagabagulirako.
Baggyeeyo amajambiya n’ebiso ne bawera okutuusa obulabe ku muntu yenna anaabatambaala era bwe batyo ne bagasalaasala gonna nga balaga obutali bumativu. Baalabye ng’abasuubuzi bamaze okugakuhhaanya ne bagabaggyako ne batandika okugasalaasala.
Abamu baasudde emisanvu mu kkubo okutangira mmotoka okugafulumya. Abasuuubuzi baayombye nga bagamba nti baabasibako kkampuni bbiri zokka okubagulako amaliba endala ne bazikugira.
Ssentebe Joseph Ssebulime ng’aliko byannyonnyola ku ttaka ly’e Kamwokya.
Baayongeddeko nti pulezidenti Museveni yali yabasuubiza okubazimbira ekyuma ekigalongoosa naye nga bikyali biwanvu. Ssentebe w’abakola mu maliba Abdulnoor Mulo, baamulumirizza okuba mu lukwe kyokka yabakakkanyizza n’abannyonnyola nga naye bw’akosebwa kyenkanyi.
Yagambye nti; “Gavumenti eggyako omusolo gwa butundu 0.8 ku buli kkiro kyokka nagwo mungi .
Amaliba agatali malongoose gassibwako obukwakkulizo obutafuluma bweru wa ggwanga”. Abasuubuzi abamu baategeezezza nti waliwo ababawa looni abavuddeko bbeeyi y’amaliba okukka wansi nga bagabagulako ku ssente ntono.
Ssentebe w’abasuubuzi bonna mu lufula Abbey Mugumba yasabye Gavumenti ebayambe balinnyise ku bbeeyi y’amaliba ng’ebazimbira ekyuma ekigalongoosa.
Yategeezezza nti abasuubuzi baddembe okugaana okugatunda kubanga gaabwe era balina obukulembeze obwesalirawo ekyokukola kyokka takkiriza ffujjo wadde okulemesa abaagala okutunda okukola kye baagala.
Bangi beemulugunya nti amagoba agandibadde gava ku ddiba nga bwe kyali edda kati tebakyagafuna kubanga eddiba lyonna balibagulako 6,000/- zokka ate nga lyali lya 60,000/- .
Bagamba nti singa bakkirizibwa okugafulumya eggwanga naddala DRC, gasobola okulinnya.

Omutuuze ng’alaga ekyapa Ssenfuka kye yamuwa ng’amaze okwegula.