TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abeesenza ku ttaka e Kamwokya balabudde yinvesita

Abeesenza ku ttaka e Kamwokya balabudde yinvesita

By Hannington Nkalubo

Added 20th August 2019

ABASENZE abali ku ttaka ne Bobi Wine kw’alina poloti, balabudde yinvesita ayagala okubasengula ne bamuwa amagezi abeesonyiwe kuba David Ssenfuka eyamuguza nabo bamubanja.

Bya Kizito Musoke, HANNINGTON Nkalubo ne Joseph MAKUMBI
 
ABASENZE abali ku ttaka ne Bobi Wine kw’alina poloti, balabudde yinvesita ayagala okubasengula ne bamuwa amagezi abeesonyiwe kuba David Ssenfuka eyamuguza nabo bamubanja.
 
Abatuuze bagamba nti Ssenfuka we yabulira bangi baali bamaze okumusasula
ssente, kyokka baagenda okuddayo ku ofiisi ze ezaali ku kizimbe kya Kalungi
Plaza nga ziggaddwa era tebaddangamu kumulabako.
 
Joseph Kakooza, ssentebe wa L.C 1 owa Mulimira zooni agamba nti okuva edda
baali bamanyi nti ettaka lya Apollo Kironde.
 
Kyokka oluvannyuma baakizuula nga yali alabirira ttaka lya mugenzi Bladina Nanfuka. Kyokka oluvannyuma baagenda okulaba nga Ssenfuka azze mu 2004 ng’abategeeza
nga bw’ali nnannyini ttaka. Yalagira abatuuze okutandika okwegula ng’abasuubizza
okubawa ebyapa.
 
Abatuuze abamu yabasalako ettaka nga bw’alitunda ate abamu abaali basasudde
yabula tannabawa byapa. Abalala ekyabagaana okugenda mu maaso n’okwegula
lwakuba baabulwa obukakafu obulaga nti ye nnannyini ttaka omutuufu.
 
Ettaka eryogerwako lisangibwa mu L.C ssatu okuli: Mulimira zooni, Old Kira Road ne Kisenyi 1 zooni. Mulimira zooni yokka mu kiseera kino eriko amayumba agawera
300 nga kubeerako abatuuze abasukka mu 1,500.
 
YAGENDA TAMPADDE KYAPA KYANGE
Amir Faabu, omutuuze mu Mulimira Zooni, agamba nti Ssenfuka bwe yabatuukirira yabalagirira ofiisi ze eza Pearl Property Investment ezaali ku kizimbe kya Kalungi
Plaza mu Kampala.
 
Yabalaga abantu basatu be balina okukolagana nabo okuli: Jane
Ssenfuka (mukyala we), Edward Kisekka (eyali kojjaawe) ne Samuel Wasswa eyali
mukoddomi we.
 
Buli desimoolo yabalagira okusasula emitwalo 50. Yasooka n’asasula poloti esooka ne bamuwa ekyapa, era oluvannyuma n’aguma n’asasula ekyapa ekyokubiri ku bukadde 11.
 
Kyokka abeera tannaba kufuna kyapa ofiisi ne ziggalwa era teyaddamu kulaba ku
Ssenfuka wadde abantu be yali abagambye okukolagana nabo.
 
Kyokka ekyapa kye yamuwa abantu abamu abaakirabako tebakitegeera
kuba tekiraga kkampuni ya Pearl Property Investment gye yaggya ettaka.
 
Okutya okulala kw’alina ye Ssenfuka okugamba nti amanyi abantu musanvu bokka abeegula ku ttaka lye b’atayogera mannya.
 
Tamanyi oba y’omu ku bantu omusanvu kuba ky’amanyi nti abantu bangi abaasasula ssente z’okwegula.
 
James Katamba owa Kisenyi 1, agamba nti y’omu ku baagenda mu ofiisi za Ssenfuka era n’asasulayo ku ssente z’okwegula oluvannyuma lw’okumatizibwa ssentebe
wa L.C nti omugagga ye yali nnannyini ttaka omutuufu.
 
“Nali naakeewola obukadde musanvu okwegula nga mbuzaayo obukadde bubiri kyokka
ng’enda okuddayo nga ofiisi nzigale nga tewali amanyi wadde gye baasengukidde”
Katamba bwe yagambye.
 
SSENTEBE GWE BALUMIRIZA OKUKOLAGANA N’OMUGAGGA ANYONNYODDE
Sebatta Kabuye, ssentebe wa Kisenyi 1 awali Ssemakookiro Plaza, yagambye nti y’omu ku bantu abaasooka okuwakanya Ssenfuka, kyokka oluvannyuma
yakyuka bwe yakizuula nga tewali nnannyini mulala avaayo.
 
Yasembye ekya yinvesita okuliyirira abasenze n’agamba nti akiwagira nnyo. Yagambye nti talina kinene ky’ayinza kukola kuba ensonga zonna aziwulira mu ng’ambo nga tannafuna bbaluwa yonna ntongole.
 
Kabuye agamba nti Ssenfuka lwe yasooka okujja eri abatuuze bangi baagaana okwegula era asuubira nti baali tebasukka musanvu.
 
Bye bamuteekako nti ye yasendasendanga abatuuze okubatwala ew’omugagga
beegule yabiwakanyizza n’agamba nti bano bamusibako matu ga mbuzi kumuliisa
ngo. Yasabye bwe wabeerawo omuntu yenna gwe yateera omukono ku kiwandiiko
ng’amusemba okwegula aveeyo kuba ensonga abamu batandise okuziyingizaamu
ebyobufuzi.
 
Aliko abakulembeze be yayogedde amannya b’alumiriza nti be baatambulanga n’omugagga nga bapima ettaka ly’abantu.
 
Yasabye waleme kubeerawo kunyigiriza bantu bwe kiba ng’ebya yinvesita bituufu.
 
ETTAKA YASOOKA KWAGALA KULIGUZA GAVUMENTI
Ettaka ly’e Kamwokya yinvesita kw’ayagala okusengula abantu baasooka kwagala
kuliguza Gavumenti n’erigaana.
 
Mu March omwaka guno, David Ssenfuka yatuukirira Dayirekita w’ekitongole
ekiketta mu ggwanga ekya ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda ng’ayagala amuyambe
amuyisizeemu ddiiru Gavumenti egule ettaka lye.
 
Kigambibwa nti, Ssenfuka yalina ekirowoozo nti, yali asobola okusikiriza Gavumenti okugula ettaka lye esende enkambi ya Bobi Wine n’aba People Power kyokka
kino tekyasoboka. Bwe twatuukiridde Kaka ku nsonga za Ssenfuka yakkirizza nti
kituufu yamutuukirira, kyokka ng’ekintu kye yali ayagala okukola kyali tekisoboka
era yalaba ng’ekirowoozo kye, kyali tekirina bwe kizimba Gavumenti okuggyako
okugisuula mu bizibu.
 
“Tolina ngeri gy’otandika kuwa Gavumenti magezi egule ettaka esenguleko
abantu baayo.” Kaka bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.

Rally 220x290

Laba ebbinu eribeera mu mmotoka...

ONOONYA ssanyu lya ku nsi, olina situleesi oba onoonya wa kuliira bulamu.Alina mmotoka gikube ekisumuluzo, owa...

Thumbnailrevmwesigwabyjmutebi5 220x290

Rev. Mwesigwa ebintu bimukyukidde:...

REV. Isaac Mwesigwa poliisi bwe yamukwasa aba famire ye, yalowooza nti ebintu biwedde kyokka ebigambo byamukalidde...

Mze 220x290

Owapoliisi atuuyanye mu gwa Kanyamunyu...

OMULAMUZI Steven Mubiru akiguddeko oluvannyuma lw’omuserikale wa poliisi eyabadde azze okulumiriza Mathew Kanyamunyu...