TOP

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa mu Kkanisa

By Luke Kagiri

Added 20th August 2019

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo abawe ensimbi, kyokka bafeeyo okukola ennyo ate nga bwe basaba Katonda.

Ssuubikazimba 703x422

Minisita Suubi Kiwanda (ku kkono) ne Bp. Stephen Kazimba mu kutongoza omulimu gw'okuzimba ekizimbe ky'Ekkanisa

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo abawe ensimbi, kyokka bafeeyo okukola ennyo ate nga bwe basaba Katonda.

 Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi Godfrey Kiwanda Suubi ye yawadde okulabula kuno bwe yabadde n’abakulembeze b’Obulabirizi bw’e Mityana, nga batema evvuunike ery’okuzimba ekizimbe ky’Ekkanisa mu kibuga wakati e Mityana.

 “Abntu abamu balinda ebyamageri nga tebabikoleredde. Oluusi abamu bagenda mu masinzizo, ne bamala obudde bwonna na basaba ne batafissaawo budde bwa  kukola, naye ne balinda okufuna ssente, naye kino kikyamu,” bwatyo Kiwanda bwe yagambye.

 Ekizimbe kino galikwoleka kigenda kuzimbibwa ku poloti y’Ekkanisa eno, eri mu  kibuga wakati e Mityana awamanyiddwa nga Banda Stage. Kigenda kuyitibwa Pennsylvania House, kizimbibwe mu bbanga lya mwaka gumu ku bbiriyoni bbiri.

Omulabirizi wa Mityana Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu yakuutidde abakkiriza mu Kkanisa eza wansi, nti nabo bafeeyo okukolayo pulojekiti ezivaamu ensimbi.  Yagambye nti bano bakolaganye ne bbanka ya Equity era bwe kiggwa nayo egenda kukolerako.

Oluvannyuma, abeetabye ku mukolo guno baasonze n’ensimbi, okwongera okuwagira omulimu guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.