TOP

Buchanan asimbiddwa mu kkooti y'amagye

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2019

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi ga UPDF.

Bya MARGRET  ZALWANGO

Omusubuuzi  wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi ga UPDF.

Buchanan 49, omutuuze w’e Buziga mu munisipaali y’e Makindye yasimbiddwa mu kkooti ekubirizibwa Lt. Gen. Andrew Gutti n'asomerwa  emisango ebiri egy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu bukyamu.

Oludda oluwaabi olwakiikiriddwa Maj. Samuel Masereje yategeezezza kkooti nti okunoonyereza kunateera okuggwa. Yasabye okuweebwa obudde okutuusa nga September 3, 2019.

Kigambibwa nti nga August 16, 2019 e Buziga mu Makindye, Buchanan yasangibwa n’emmundu n'amasasi agakola obulungi 18 agakuba mu mirimmita 9, byonna nga bya UPDF.

Wabula Buchanan eyabadde omuwooteefu yategeezezza kkooti nga bwe yakwatibwa ku misango mirala ng'ate mu kkooti bamuvunaanye mirala. Looya we Frank Kanduho yasabye asooke ayogerako naye.

Ono baamusomedde emisango kyokka ne yeerema okuddamu oba akkiriza, olwo kkooti n’esalawo okuwandiika nti yegaanye byonna ebimuvunaaniddwa.

Buchanan yasabye kkooti asibibwe e Luzira wabula Gutti n'asalawo okumusindika e Kigo okutuusa nga Sepetember 3, lwanakomezebwawo mu kkooti.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira