TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gwe bakutte ng'abba vanilla asimattuse okuttibwa

Gwe bakutte ng'abba vanilla asimattuse okuttibwa

By Ponsiano Nsimbi

Added 21st August 2019

Ono yasangiddwa n’ekkutiya mwabadde ateeka vanilla gw’anoga era oluvannyuma baamwetoolozza ebyalo nga bwe bamuyisaamu ensambaggere nga bwe bamubuuza gy’abadde atunda Vanilla gw’abba.

Vanilla3 703x422

Nsubuga (ku mpingu) ng'atwalibwa poliisi oluvannyuma lw'okuggyibwa ku ku bantu abaabadde baagala okumugajambula.

POLIISI ewonyezza omubbi wa Vanilla okugajambulwa abatuuze ku kyalo Maseke mu ggombolola y’e Ngogwe mu disitulikiti y’e Buikwe.

Charles Nsubuga 28, ye yasimattuse okuttibwa abatuuze abaabadde batamye ng’Engo oluvannyuma lw’okumukwata lubona ng’anoga vanilla wa munnaabwe Deo Ssekanjakko.

Ssekanjakko ng’ayambibwako abatuuze baasimbye ku Nsubuga ne bamukwata ng’agezaako okwemulula ne bamukuba emiggo. Ono yasangiddwa n’ekkutiya mwabadde ateeka vanilla gw’anoga era oluvannyuma baamwetoolozza ebyalo nga bwe bamuyisaamu ensambaggere nga bwe bamubuuza gy’abadde atunda Vanilla gw’abba.

Poliisi y’e Nkokonjeru ng’ekulembeddwaamu Moses Enyeru oluvannyuma yasobodde okutaasa Nsubuga n’emuggya ku batuuze n’emutwala ku poliisi gye yagguddwaako omusango gw’obubbi ku fayiro  SD: 14/20/08/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo