TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ba Imaam mu Lwengo balabuddwa ku kuwoowa abatanneetuuka

Ba Imaam mu Lwengo balabuddwa ku kuwoowa abatanneetuuka

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2019

"Kitalo nnyo okusanga Imaam omulamba nga gwe akuliddemu emikolo gy'okuwoowa omwana ow'emyaka 14, bannange obwo bukulembeze nabaki!.

Abakulembezebabasiramuabagugumbuddwakhadiwabwe 703x422

Abakulembeze b'Abasiraamu abaagugumbuddwa Khadi waabwe, Sheikh Ibrahim Ismeal Kibuule (mu katono).

Bya FLORENCE TUMUPENDE

DISITULIKITI Khadi w'e Lwengo, Sheikh Ibrahim Ismael Kibuule agugumbudde ba Imaam b'emizikiti egiri mu Lwengo abeegumbulidde omuze gw'okuwoowa n'okufumbiza abaana abatanneetuuka nga bw’agenda okubasiba awatali kuttira muntu ku liiso. Yagambye nti kino kijja kuyambako abalala abeekwese okukikomya kuba be bavuddeko okuvumaganya eddiini n'obungi bw'abaana abawanduka mu masomero okweyongera.

"Kitalo nnyo okusanga Imaam omulamba nga gwe akuliddemu emikolo gy'okuwoowa omwana ow'emyaka 14, bannange obwo bukulembeze nabaki!.

Lwaki totumya ku boobuyinza ne bakwata abazadde b'omwana oyo eggwanga ne litereera. Nze mu buweereza bwange ebyo sigenda kubikkiriza era bw’oba omanyi nti olina omwana gw’oyagala okuwandula mu ssomero omufumbize ng'olulunkanira omwenge ne bussukaali obutaliimu eyakwalula esiridde,” Sheikh Kibuule bwe yategeezezza.

Bino yabyogedde alambika abakulu b'amatwale ne ba imaam b’e Lwengo ng'abalaga ebyo by’ateekeddwa okusookerako okukola oluvannyuma lw'okutuuzibwa ku bwa Khadhi obujjuvu nga ku Lwokusatu lwa wiiki ejja.

Okugumbula ba imaam kiddiridde ba imaam babiri (amannya gasirikiddwa) abaakwatibwa nga bawoowa abaana abatanneetuuka mu ggombolola y'e Lwengo nga bano bavunaanibwa ng;amateeka bwe galagira.

Kuno agasseeko okutumbula ebyenjigiriza mu Lwengo nga tasosodde mu ddiini yadde obuwangwa wabula n’alabula abazadde abagayadde mu kusomesa abaana babwe n’asaba abakulembeze okumuyambako bakangavvulwe.

Bo Abasiraamu baamuloopedde ng’enkaayana z'Abasiraamu bwe zibatamye n’abasuubiza bw’agenda okukinogera eddagala kirabike nga mu buweereza bwe Abasiraamu bakwatagana bulungi era n’abakuutira okwenyigira mu kukola kuba ekireeta ebyo byonna buba bwavu nga buli omu asika azza wuwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.