TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eby'okukwata owa Middle East ku by'okufera abantu biranze

Eby'okukwata owa Middle East ku by'okufera abantu biranze

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2019

Eby'okukwata owa Middle East ku by'okufera abantu biranze

Mid2 703x422

Ofiisi za Middle East Consultants Ltd. ezisangibwa e Muyenga.

OKUNOONYEREZA ku ba kkampuni ya Middle East Consultant, ku bigambibwa nti babadde babba ssente ku bantu nga babasuubiza okubafunira emirimu wabweru w’eggwanga n’emala n’etabatwala byongedde okulanda.

Kino kiddiridde abantu abawera 27, okwemulugunya eri akulira ekitongole ky’amaka g’Obwa Pulezidenti ekirwanyisa obulyake, ekya 'State House Anti-Corruption Unit', Lt. Col. Judith Nakalema, nti baawaayo ssente zaabwe kyokka balinze emyezi egisoba mu esatu, tebabatwalanga ne ssente tebakkiriza kuzibaddiza.

Nakalema, ku Mmande yalagidde bambega ba poliisi ne bakwata abamu ku bakulira kkampuni eno okwabadde Benon Kunywana ne Owen Ayamba.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwab Nakalema, yategeezezza nti baafunye okwemulugunya okuva eri abavubuka 27, nga bagamba nti mu kiseera kino kkampuni ezitwala abantu wabweru ziwera 30, nga ne Middle East, y’emu ku zo. Ayongerako nti poliisi yamaze dda okuggulawo emisango ku kkampuni nnya kw'ezo omusanvu ezinoonyerezebwaako mu kiseera kino.

Emisango egibavunaanibwa kuliko; egy’okufuna ssente mu ngeri y’olukujjukujju n’egy'okutulugunya abantu be baggyako ssente naddala bwe bagezaako okuzibabanja. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire, yategeezezza nti abaakwatiddwa bagenda kubatwala mu kkooti amangu ddala nga fayiro zaabwe ziwedde bavunaanibwe emisango gy’okuggya ssente ku bantu nga babasuubizza emirimu ate ne batagibawa. “Tuzze tufuna okwemulugunya okuva mu bantu ab’enjawulo be bazze baggyako ssente kyokka ne batabatwala kubafunira mirimu,” Owoyesigyire, bwe yategeezezza.

Omu ku baakwatiddwa ayitibwa Owen Ayamab, yasangiddwa n’ebiwandiiko ebijingirire, ng’ateekateeka okukukusa abawala 27, okubatwala mu nsi z’Abawalabu. Poliisi egamba nti okunoonyereza kuno bakugaziyizza nga kati bagenda amaanyi kugassa ku kkampuni musanvu abangi ze basinze okusongamu olunwe.

ABEEMULUGUNYA Lawrence Kibira ne Lillian Nambooze bagamba nti, baabaggyako buli omu ssente 4,070,000/- nga babasuubizza okubatwala okubafunira emirimu kyokka kati buli lwe bagendayo bababoggorera nga kwe batadde okubakuba.

Ate Adolf Kyaligonza, agamba nti y’omu ku balabidde ennaku mu kkampuni ya Middle East, nti kuba ennaku z’omwezi nga January 27, 2018, yali omu ku bantu 100 abaakola yintaaviyu okutwalibwa mu Abu Dhabi, era ne bamugamba okusasula ssente 5,500,000/- mu bbanka ya Equity, akawunti nnamba 1002200695532.

“Bwe nnamala okusasula bahhamba nti, nninde kimu kulinnya nnyonyi kyokka ate oluvannyuma ne bahhamba nti, nnyongereyo ssente 500,000/- banfunire viza,” Kyaligonza bw’agamba.

Ayongerako nti ne bwe yalinga amaze okuwaayo ssente endala, baagaana okumutwala okutuusa lwe yasalawo ne banne abalala abaali babanja okwekalakaasiza ku ofiisi za kkampuni olwo abagikulira kwe kubakwatirwa ekisa ne babawaayo buli omu 4,400,000/- kw’ezo obukadde omukaaga, bwe baali babanja.

Okunoonyereza era kulaga nti kkampuni eno ebadde ekozesa ezimu ku ssente ze baba basoloozezza ku bantu ne basasula abo ababeera babatadde ku nninga okubaddiza ssente zaabwe ze baba baabaggyako ate ne batabafunira mirimu.

Nakalema, agamba nti yatandikidde ku ba Middle East, kubanga be basinga okwemulugunyizibwako nti naye waliyo kkampuni endala ze banoonyerezaako era bwe banaaba bamalirizza okunoonyereza kwabwe, bajja kulaga ekiddako.

ABAKOZI ABAFIIRA KU KYEYO Kigambibwa nti nga bwe kiri ku zimu ku kkampuni endala, aba MECL, babadde batwala abakozi abamu ne bafiirayo kyokka ne baleka famire z’abantu abo okubonaabona n’okuzza omulambo so nga bwandibadde buvunaanyizibwa bwa kkampuni ebeera yamutwala. Albert Mwesigye, eyafiira mu Abu Dhabi, y’omu ku baali baatwalibwa aba MECL

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.