TOP

Engeri aba Middle East gye baferamu abantu

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2019

Engeri aba Middle East gye baferamu abantu

Get2 703x422

Ofiisi za Middle East Consultants Ltd. ezisangibwa e Muyenga.

OKUNOONYEREZA okukoleddwa kulaga nti, kkampuni eno ebadde ekuba obulango ku mikutu gy’amawulire egy’enjawulo era ng'abantu bangi basikirizibwa ne bagenda ku ofiisi zaabwe nga baagala okugenda bafune emirimu basobole okweyimirizaawo ne famire zaabwe.

Kw'abo abantu ababeera bazze, buli omu bamuggyako ssente kubanga akalombolombo kaabwe kagamba nti, omuntu yenna nga tannaba kukola yintaaviyu, alina okusooka okubeera ne ssente ng’akabonero akalaga nti mwetegefu okugenda okukuba ekyeyo.

Ne bwe baba tebaakuteeke ku lukalala lw’abo ababeera bayiseemu, bakuggyako ssente ate n’abo ababeera bayiseemu nabo ne bongera okubaggyako ssente endala ez’enjawulo. Ssente ezisooka zibeera za yintaaviyu,ate endala za viza, akatabo k’okugemebwa omusujja gw’enkaka (yello fever), n’emisoso emirala mingi.

Okunoonyereza era kulaga nti waliwo abantu be baggyako ssente okusinziira ku mirimu gye baba baagala kyokka olumala okuzibaggyako ng’ate babawaamu mirimu mirala.

“Emirimu gy’okubeera asikaali naddala e Qatar ne Abu Dhabi, ssi myangu gya kufuna kyokka bayinza okukuggyako ssente nga bagikusuubizza ate oluvannyuma ogenda okuwulira nga bakugamba nti, giweddewo ogenda kukola bwa kadaama oba kiyite emirimu gy’awaka oba kusiimuula bibimbe,” omu ku beemulugunya bwe yategeezezza bambega.

Kizuuliddwa nti oluvannyuma lw’okukitegeera nti abantu baali batandise okubatebuka olw’emize gyabwe,aba Middle East, era baagenda ku mikutu gy’amawulire, ne batandika okulaga ezimu ku nnyumba abantu be baatwala ku kyeyo ze baali bazimbye, so ng’era kibuusibwabuusibwa nti kituufu.

“Kino baakikola kusikiriza bantu bongere okwesiga kkampuni eno. Teebereza oluusi babadde bakimanyi nti baagala abantu nga 100, kyokka ne bayita abantu nga 250, ate bonna ne babaggyako ssente za yintaaviyu ezitemera mu mitwalio 20, oluvannyuma ne batandika okubatambuza nga bawoza komawo leero, komawo enkya…”, Bwe batyo bwe baagambye bambega abanoonyereza ku mivuyo gyabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...