TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Yaaya afumise gw’ayagalira omusajja n’amutta

Yaaya afumise gw’ayagalira omusajja n’amutta

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2019

Yaaya afumise gw’ayagalira omusajja n’amutta

Kit2 703x422

YAAYA akutte ekiso n’afumita omukazi gw’abadde ayagalira omusajja namuttirawo. Ettemu lino lyabadde mu zooni D e Butabika okumpi ne Luzira, mu divisoni ya Nakawa. Juliet Odalu y’afumitiddwa omuwala akola obwayaaya ku muliraano eyategeerekeseeko erya Shidah lyokka.

Ab’omuliraano baategeezezza nti baludde nga balaba olutalo wakati w’omugenzi ne Shida nga luva ku musajja. Wiiki ewedde waaliwo olutalo wakati w’omugenzi ne bba, Robert Chandia, era kigambibwa nti Chandia yagezaako okugobaganya mukyala we.

Oluvannyuma Odalu alina omu ku mikwano gye gwe yanyumizaako nga embeera bw’emusobedde era nga bw’agenda okuva ew’omusajja wabula nga mukwano gwe yamutegeeza nti abaana bakyali bato okubalekawo era nga kino Odalu yakiwuliriza eby’okunoba n’abivaako.

Shidah n’omugenzi baasoose kuyomba, olutalo bwe lwakkakkanye, Odalu yalabiddwa ng’agula akambe ku dduuka era ekyaddiridde kwe kkulumba munne namusogga ekiso mu kifuba n’akalirawo.

Avunaanyizibwa kuby’okwerinda mu zooni eno, John Wangi yategeezezza nti yabadde waka n’awulira oluyoogaano nga lususse kwe kugenda alabe ogubadde. Bwe yatuuse mu kifo kino, yasanze Odalu agangalamye mu kita ky’omusaayi nga buli omu yeesansabaga nga Shidah bwasse munne.

Wangi yadduse n’atemya ku ssentebe w’ekyalo eyamulagidde akuddayo akuume abaana obutatuusibwako bulabe. Shidah olwamaze okufumita omuntu n’agezaako okudduka kyokkaabatuuze ne bamugoba okukkakkana ng’ayingidde mu kiyigo ky’omutuuze, eyamukutte n’amutwala ku poliisi y’omu Kirombe eyamuggalidde okumutaasa ku batuuze abaabadde bataamye obugo.

Hassan Wangalwa ssentebe mu kitundu ategeezezza nti naye yagenze okutuukawo ng’abantu bakuhhaanye era n’ayita poliisi eyatuuse okukkakkanya embeera. Omulambo gwa Odalu gwatwaliddwa mu ggwanika e Mulago.

Wangalwa asabye abantu obutatwalira mateeka mu ngalo era nga ne bwe babeera bafunye obutakkanya babugonjoole mu ngeri ya kintu kikulu okusinga okuyiwa omusaayi.

OMUBAKA ATANGAAZIZZA Omubaka wa Munisipaali y’e Nakawa, Micheal Kabaziguluka ategeezezza nti yabadde waka we ne bamukubira essimu ng’ategeezebwa nga bwe waliwo omuntu asse munne e Biina era n’asitukiramu. Kabaziguluka yategeezezza nga poliisi bw’egenda okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyavuddeko obuzibu.

SSENTEBE ALAZE ENGERI ABATUUZE GYE BATWALIRA AMATEEKA MU NGALO

Gye buvuddeko waliwo omutemu gwe baakwata ng’azze atigomya ekitundu era gye byaggweera ng’abatuuze bamukutte ne bamukuba amayinja okutuusa lwe baamutta nga kino abatuuze bagamba nti kye kijja okukendeeza ku butemu mu kitundu kyabwe.

Olulala batta omuvubuka lwa muwala nga kigambibwa nti balina omuwala gwe baali baagala ababiri era nga munne yamupangira abavubuka bana (4) ne bamutta nga bano baakwatibwa naye abasatu baabata dda. Waliwo n’omuvubuka eyali omusambi w’omupiira mu kitundu nga ono naye yateegebwa ba kifeesi ne bamutta ne Odalu kuno kw’oteeka n’ono gwe basse mu ngeri etannategeerekeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nagiriinya1nu 220x290

Eyaliko yaaya wa Nagirinya bamukutte...

ABEEBYOKWERINDA bongedde amaanyi mu kunoonyereza ku batemu abaawamba oluvannyuma ne batta omuwala Maria Nagirinya....

Shecraneswebnew 220x290

She Cranes yeetegekera za Afrika...

Ttiimu y'eggwanga eya She Cranes etandise okwetegekera empaka za Afrika ezitandika omwezi ogujja e South Afrika...

Do 220x290

Poliisi erondoola aba boda 2 abaamanya...

ABAVUNAANIBWA okuwamba n’okutta Maria Nagirinya ne Ronald Kitayimbwa poliisi ebatutte ew’omusawo okubeekebejja...

Cobapwebweb 220x290

Kiraabu COBAP ewumizza ey'e Kenya...

Kiraabu ya COBAP eraze ginnaayo okuva e Kenya nti ekyali ya bigere mu bikonde, bw'ewumizza abazannyi baayo n'ebaleka...

Nara 220x290

‘Nalaga Abamerika bannaffe be batta...

Grace Bukenya amanyiddwa nga BK akuba bulatti olwa Amerika okusitukira mu Kayihura.