TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi y’e Njeru ekutte ekibinja ky’abagambibwa okubbisa emmundu

Poliisi y’e Njeru ekutte ekibinja ky’abagambibwa okubbisa emmundu

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2019

Poliisi y’e Njeru ekutte ekibinja ky’abagambibwa okubbisa emmundu

POLIISI y’e Njeru esangibwa mu kitundu kya Ssezzibwa akoze ekikwekweto n’ekwata akabinja k’ababbi abagambibwa okutta, okubbisa emmundu n’ebikolwa ebirala ebyefujjo ku bantu mu kitundu kino.

Ekikwekweto kino kyayindidde mu bitundu by’e Mbiko, Namwezi, Kyabaggu ekisangibwa mu Tawuni kanso y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe.

Ekibinja kino kimanyiddwa nga “'Boys Boys” era nga kibadde kikulirwa “Kapol” eyakwatiddwa okusooka ku Mmande ya wiiki eno oluvannyuma n’aloopa banne abalala 11. Bano baasangiddwa n’ebintu omuli bbatuuni za poliisi n’ebyuma ebimenya ennyumba.

Abakwate bano kigambibwa nti baasangiddwa n’ebyambalo by’amagye mu nnyumba mwe babadde basula bwe baabadde baaza era okubakwata baabadde balina ennyumba gye baabadde bagenda okumenya.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kino, ASP/ Hellen Butoto yagambye nti abakwate bonna bakyakuumirwa ku kitebe kya poliisi y’e Njeru mu Buikwe ng’okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.