TOP

Kaija ayogedde ebifudde Bukedde ow’amaanyi

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2019

Kaija ayogedde ebifudde Bukedde ow’amaanyi

Bab1 703x422

Barbara Kaija omukuhhaanya wa Vision Group ow’oku ntikko.

OMUKUhhAANYA wa Vision Group ow’oku ntikko efulumya ne Bukedde, Barbara Kaija alaze ebikoze Bukedde emyaka 25 olupapula luno gye lumaze nga luweereza abantu. Yeenyumiriza nnyo mu ngeri Bukedde gy’etumbudde olulimi Oluganda era nga kati lwogerwa kumpi mu buli kitundu kya Uganda era nga luyambye ne mu kugatta Bannayuganda.

Kaija yabadde awa obubaka bwe ng’olupapula lwa Bukedde luli mu bijaguzo by’okuweza emyaka 25. Mu kiseera kyekimu, Bukedde Ttivvi nayo eri mu bijaguzo bya kuweza myaka 10 ate Bukedde FM ejaguza emyaka 11. “Amaanyi ga Bukedde gasobodde okukyusa obulamu bw’abantu abawerako era ekyo kituwa essanyu.” Kaija bwe yategeezezza eggulo ng’asinziira mu ofiisi ye ku kitebe kya Vision Group mu Industrial Area.

Yannyonnyodde nti mu 1994, Obukulembeze obwali wansi wa William Pike bwakiraba nga kyetaagisa okutandikawo olupapula lw’Oluganda lusobole okuyamba aboogezi b’Oluganda abaali abangi kubanga empapula z’amawulire ez’Oluganda ezimu zaali zigudde ate endala nga zinafuye nnyo.

Baalanga mu lupapula lwa The New Vision nga basaba abantu okubaweereza erinnya lye baalina okutuuma olupapula olwali lugenda okutandikibwawo The New Vision. Wadde ng’abantu abaasindika obubaka baali bangi, kyokka mukyala w’omuyimbi kati omugenzi Elly Wamala ye yaweereza erinnya lya Bukedde eryalondebwa era n’aweebwa n’ekirabo. “Bukedde mmwebaza kuba akoze kinene okutumbula olulimi Oluganda.

 Olupapula lwa Bukedde olwasooka okufuluma.

Olulimi lwonna bwe lutawandiikibwa lusobola okunafuwa oba okufiiraddala. Abaana bangi abasomye Oluganda bafunye emirimu mu Bukedde ate n’atakoma awo, Oluganda n’aluwandiikamu n’ebitabo eby’enjawulo” Kaija bwe yagambye; n’awa ekyokulabirako ky’ebitabo nga Muteesa Kabaka Wange, Ekitiibwa kya Buganda ne Paapa Francis

Bukedde yamwogeddeko ng’olupapula olusinga okutunda mu ggwanga Uganda nga ne mu Africa yonna lukwata kyakubiri mu mpapula z’amawulire ezikula okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa ekitongole kya ABC (Audit Bureau of Circulation).

Kaija agamba nti olulimi Oluganda lwa byabusuubuzi olwogerebwa mu buli kanyomero ka ggwanga olukoze ekinene okugatta Bannayuganda. Yeebazizza abasomi olw’okuwagira Bukedde okumala kati emyaka 25 n’agamba nti be bafudde Bukedde ow’enjawulo. Yasabye abasomi okwongera okuwabula ku biba tebitambudde bulungi n’okuwa ebirowoozo ebipya ebisobola okutwala mu maaso akatabo.

Yalabudde abasomi okwegendereza omuze gw’abasasi ba kkampuni ya Vision Group abasobola okubasaba ssente nga tebannaba kubaggyako mawulire. Yagambye nti amawulire gonna agakwatibwa emikutu gy’ekitongole ga bwereere      ‘Bukedde Ttivvi ne Leediyo za njawulo’   

 ‘Bukedde Ttivvi ne Leediyo za njawulo’ 

  Kaija yagambye nti Bukedde olupapula lwe lwazaala Bukedde Ttivvi ne Bukedde Leediyo ebifuuse ensonga mu ggwanga ensangi zino. Yakinogaanyizza nti bwe baali batandika leediyo ne ttivvi baayagala bakole ekintu eky’enjawulo ekyawukana ku byaliwo ng’abantu basobola okubawa amawulire agali mu ngeri y’emboozi.

“Twasalawo okufuna abakozi okwali Simei Wessaali, Hadijah Nabukenya be twaggya mu lupapula ne mbeegattako ne tugenda e Kenya ne twongera okukuguka mu byempeereza ya ttivvi. Kino kyatuyamba okufuna emikutu gy’omuntu waabulijjo egya nnamaddala” Kaija bwe yategeezezza.

Mu kiseera kino musanyufu kuba pulogulamu nnyingi eziyigiriza, ezimanyisa n’ezisanyusa ziri ku mikutu gino, gamba nga; Akeezimbira, Omuntu w’Abantu, Abanoonya n’endala nnyingi.

Mu kusooka abantu abamu amawulire Agataliiko Nfuufu, baali bagayita katemba olw’okuba ebintu ebyali bisobye ng’okubba ettaka n’okutulugunya abaana byali tebyanikibwa ku mikutu egyaliwo.

Kino kiyambye Bukedde ttivvi okwekuumira ku ntikko wadde ng’endala nnyingi zigezezzaako okugikoppa. Ekimu ku kyama ekiyambye ennyo emikutu gya Bukedde lwa kuba nti ebintu byonna babikola nga ttiimu era kizibu okugamba nti omuntu bw’ati y’azimbye Bukedde yekka.

Abantu bangi okuli abakulira n’abalala abatamanyiddwa nnyo bantu abateekayo obudde n’okwewaayo okulaba ng’ebintu bibeera ku mutindo. Ekyama ekirala kiri mu kubeera na basasi abangi mu buli kitundu kya ggwanga. Kino kibayamba nti ekintu kigenda okugwawo nga balinawo omuntu asobola okukibafunira mu budde.

Yasuubizza okwongera okuwa abasomi, abalabi, n’abawuliriza ba Bukedde FM ebisingawo kuba bali mu kiyungu bafumba. Kaija yasabye abantu okuweereza obubaka obulaga engeri olupapula lwa Bukedde gye lukyusizzaamu obulamu bwabwe.

Mu ngeri ey’enjawulo yeebazizza akulira kampuni ya Vision Group, Robert Kabushenga olw’okuleeta ekirowoozo ky’okutandikawo Bukedde leediyo mu 2008 ne Bukedde ttivvi mu 2009.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu