TOP

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2019

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600

Kip2 703x422

Eria Lukwago

LOODI meeya Erias Lukwago Kkooti Enkulu eragidde Gavumenti okumusasula ssente obukadde 600 ze yalina okufuna wakati wa 2013 ne 2016 bwe yali aggyiddwa mu ofiisi y'Obwaloodi meeya mu bukyamu.

Mu 2013 bakansala ba KCCA baagoba Lukwago mu ofiisi y’Obwaloodi meeya wabula nga tebaakuba kalulu Lukwago n'abasalira amagezi n'agenda mu kkooti. Baagenda okuddamu tuula okukuba akalulu oba nga bamuggyamu obwesige nga kkooti yabayimiriza dda kyokka ne bagenda mu maaso okugoba Lukwago mu ofiisi.

Gavumenti yagaana okusasula Lukwago omusaala n'akasiimo ke mu bbanga lya myezi 30 okuva bga December 2013 okutuuka May 2016 ng'egamba nti ebbanga eryo teyali mu ofiisi.

Omwaka oguwedde Lukwago yaddukira mu Kkooti Enkulu n'aggula omusango ku Ssaabawolereza wa Gavumenti, Dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi ne minisita avunaanyizibvwa ku nsonga za Kampala Olive Kamya olw’okugaana okumusasula naye nabo ne balemerako nti tebasobola kukkiriza kumusasula kubanga teyali mu ofiisi ate yagaana okuggyayo emisango gyonna gye yali abagguddeko.

Omulamuzi Andrew Bashaija yasaze omusango n'agamba nti Lukwago obutamuwa musaala gwe okumala emyezi 30 nga tali mu ofiisi kyakolebwa mu bukyamu kubanga bakansala baagenda okukuba akalulu okumuggyamu obwesige, kkooti yali emaze okubayimiriza ekitegeeza nti, byonna bye baali bakola tebyali mu mateeka.

Agasseeko nti ekiragiro ekizza Lukwago mu ofiisi tekyali kimu wabula byali bya balamuzi abawerako kyokka baabijeera nga kati balina okumusasula ssente zonna ze yalina okufuna.

Lukwago abadde abanja omusaala gwa bukadde 563 nga zino kkooti eragidde zimuweebwe era n'egattako n’okumwongera obukadde 100 olw’okumulumya n’okumutaataaganya omugatte bwe bukadde obusoba mu 600 bagatteko ne ssente zonna z'asaasaanyiza mu musango guno

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...