TOP

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2019

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Lab2 703x422

ABATUUZE mu ggombolola y’e Ngogwe mu disitulikiti y’e Buikwe bawaddeyo ebirowoozo byabwe eri akakiiko akagatta enzikiriza mu Gwanga ku ngeri gye baagala Ssemateeka w’egwanga gye baagala akyusibwemu ku ngeri gye baagala okukulemberwamu Abatuuze balumirizza abakungu ba Gavumenti okuvvoola Ssemateeka aliwo mu kiseera kino mwe basinzidde okusaanyaawo ebibira, entobazzi n’okutyoboola eddembe ly’obuntu n'ebawa endowooza zaabwe nti, wabengawo ebbanga eggere okubaako kye bakyusa mu Ssemateeka.

Abakulembeze b’abakiiko akagatta enzikiriza mu Uganda aka Inter Religious Council akaaweebwa omulimu gw’okukuhhaanya endowooza z’abantu ku ngeri gye baagala okukulemberwamu kaabadde mu disitulikiti y’e Buikwe okufunamu endowooza z’abantu Baakumbeddwaamu ssentebe w’akakiiko kano Bp. Dr. John Kakembo ow’Abadiventi eyawummula n’omuwandiisi w’akakiiko Joshua Kitaakule.

Baakutuuka mu disitulikiti endala okuli; Luuka, Katakwi, Gulu ne Kaabalore Dr. Kakembo agambye nti baategeeza Pulezidenti Museveni nti ebintu tebigenda bulungi era Uganda eyinza okufuna obuzibu kyokka nga ye agamba nti, embeera nnungi era n'abakkiriza batambule eggwanga bakuhhaanye ebirowoozo by’abantu ku ngeri gye baagala Uganda ekulemberwemu Agambye nti essira baalisa ku nsonga musanvu okuli; 1 Entalo mu byobufuzi

2 Okusengula abantu

3 Obutonde bw’ensi

4 Ebyobulamu

5 Ebyenfuna 6Obuweereza eri bannansi

7 Okussa ensonga zino mu nkola Baasoose kusisinkana bakulembeze ba disitulikiti n'oluvannyuma ne basisinkana abakulembeze ku mutendera gw’eggombolola n’abantu abassibwamu ebitiibwa ouwa endowooza zaabwe. Abatuuze baasabye okusiba Ssemateeka obutabeera wa kuzannyirako buli kiseera lwe wabaawo obwetaavu bw’abantu ssekinnoomu n'akyusibwa.

Ku bibira n’entobazzi bagala wassibwewo obukiiko ku butonde bw’ensi nga bulina obuyinza okukwata abatema ebibira n’abookya amanda kuba bangi bakolagana ne NFA oba NEMA ne basaanyaawo ebibira n’okwonoona entobazzi.

Bagamba nti okuva edda ng'abatuuze babeera n’ebibanja ebiriraanye ebibira kyokka nga tewali atema muti mu kibira okugyako okusennyaayo enku nti kyokka kati ebibira bitemwa balaba.

Baawadde amagezi Pulezidenti abeere n’obuyinza ku nsonga z’ettaka ng'ayinza okuyisa ekiragiro n’ayimiriza abantu ababeera bagobeddwa mu bibira obutabaawo mulala aliddako.

Baawadde ekirowoozo ku bamusigansimbi abagula ebyalo ne batema emiti n’okusaanyaawo ebibira n'okutunda emiti egikuumiddwa emyaka n’ebisiibo nga egya lubaale kibuyaga n'adoobya ebyalo.

Era baagala wabeerewo enkyukakyuka mu byenjigiriza ng'omwana ali mu UPE asobola okuvuganya n’asomera mu ssomero ly'obwannannyiniokugenda mu yunivasite e Makerere. Ababba ensimbi z'omuwi w'omusolo ebyabwe babibowe n'ebibonerezo ebikambwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.