TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2019

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu

Got2 703x422

Butto akamuddwa mu kisubi

KACAAYI akalimu amajaani g’ekisubi kawoomera bangi, wabula abamu batya okugula amajaani gaakyo nga bagamba nti, abagatunda bafere akawoowo bakasiiga kungulu munda temuba era ogenda okugassa ku caayi nga temuli kisubi.

Bangi okukinywa bakikolamu nsaano, kyokka ate abamu abakinywako bagamba nti, tekibakolera olw’obugimbi obukiriko, olukinywa ate ebasajjula amabwa naddala abalina alusa. Olw’embeera eno kye tuvudde tukamulamu butto akuwa emigaso egy’enjawulo.

1 Abantu abakoowa naddala abakeera nga tebalina maanyi, nywa amatondo ataano akawungeezi ne ku makya ate kiyamba ne ku nkuba y’emmere.

Era waliwo kkampuni kati ezikola eby’okunywa ebizzaamu amaanyi nga bakozesa kisubi. 2 Ayamba ku musujja, osobola okumukozesa mu kugujjanjaba ng’omunywera ku mazzi agabuguma. Takoma ku bantu wabula agujjanjaba mu bisolo n’enkoko.

3 Omukyala ali mu nsonga, kimuyamba obutalumizibwa, onywa amatondo ataano.

4 Ku bafuna ekiddukano, abayamba okukisiba, kuba atta obuwuka obukireeta mu bantu, ente, enkoko n’ebirala.

5 Akuwonya omutwe, weesiiga ku mutwe n’emabega w’amatu era gusirikirawo. 6 Abalina ebirime ng’enjuki tezijja mu nnimiro naddala abalina obutunda n’ebirime ebirala ebyetaaga enjuki okuwakisibwa osobola okuteeka mu ppamba alimu butto w’ekisubi, akawoowo kasika enjuki.

7 Ku muntu alunda enjuki, butto osobola okumutega ku muzinga kuba akawoowo k’alina kasikiriza enjuki ne ziyingira.

8 Ayamba okugumya amannyo n’okutangira endwadde zaago. Munyumunguze mu kamwa buli ku makya.

9 Akola ku kandida w’omu kamwa, kinyumunguzeemu nga bw’onywa, era kiyamba ne ku baana abeesika.

10 Alina ensenke ku maaso, teeka ettondo mu mazzi g’onaaba mu maaso kijja kugobamu obucaafu.

11 Alina oluwumu mwesiige lujja kugenda.

12 Akola ku bakyala bannabukalu ssinga bamwesiiga mu bitundu byekyama.

13 Kiyamba okukkakkanya ekinywa ky’amabeere amata ne geeyongera.

14 Alina ekirabo ky’emmere, fuuyira akawoowo mu kirabo kyo ate naawe okumwekuba ajja kusikiriza abaguzi. Ate omuteeke ne mu caayi.

15 Ayamba mu kwokya amasavu n’abalwadde b’akawago nga tebasobola kusiba musulo. Ssinga weesiba ekinywa, weesiige butto ono bijja kuta.

Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch asangibwa ku Equatorial Mall edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...