TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyaziririra muggyawe abaana ng’amulumiriza okumubbako omusajja bimusobedde: Abakooye n'abasuula ku poliisi

Eyaziririra muggyawe abaana ng’amulumiriza okumubbako omusajja bimusobedde: Abakooye n'abasuula ku poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd August 2019

Kisaakye agamba baayawukana ne bba Sharif Walukagga n'abaana n'abamuwa n'abatwala ewa Nakalema naye n'afumbirwa omusajja omulala nga tayinza kwesibako baana bakulu batyo kumulemesa musajja we mupya.

Abaanabakisaakyebaabaddeyegaana 703x422

Abaana ba Kisaakye (mu katono) be yabadde yeegaana.

Bya JAMES MAGALA

WAABADDEWO  katemba ku Poliisi ya Paaka Enkadde mu Kampala omukazi Lamula Kisaakye omutuuze w'e Ndejje Kanaaba bwe yeesuddemu jjulume n'aziririra muggyawe Edith Nakalema abaana basatu be yeezaalira ng’amulumiriza okumubbako omusajja.

Katemba ono addiridde Nakalema okuddukira ku poliisi ya Paaka Enkadde ne yeekubira enduulu nga muggya we bwe yamusuulira abaana kyokka ate n'omusajja n'amuddukako n'atabawa buyambi.

Poliisi wano weekwatidde Kisaakye annyonnyole lwaki asuulira muggyawe abaana kyokka Kisaakye olwatuuse ku Poliisi n'alayira nga bw'atayinza kutwala baana be olw'ensonga nti Nakalema yagenda okumubbako omusajja ng’alaba ajja kumusobola n'abaaana be.

Kisaakye agamba baayawukana ne bba Sharif Walukagga n'abaana n'abamuwa n'abatwala ewa Nakalema naye n'afumbirwa omusajja omulala nga tayinza kwesibako baana bakulu batyo kumulemesa musajja we mupya.

Nakalema bino alabye biri bityo n'awera nga naye bw'atayinza kwetikka mugugu gutali gugwe era wano w’asabidde poliisi okubataawulula. Abapoliisi balagidde abaana okubalaga nnyabwe omutuufu era ne basonga ku Kisaakye abadde abeegaana ekitabudde abantu ne bamuvuma.

Nakalema agamba nti amaze emyaka etaano ng’alabirira abaana ba Kisakye nga kwe kuli n'okubasomesa awatali amuyambako naye alemereddwa kwe kusalawo abaddize nnyaabwe era wano abaleesewo n'atambula n'agenda.

Abasirikale balagidde Kisaakye atwale abaana be kyokka ne yeerema okukkakkana nga bakubidde Walukagga ajje anone abaana be.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kim1 220x290

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero...

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero okussa essira ku masomo agalina akatale

Det22 220x290

Ssemaka ow'emyaka 56 atudde senior...

Ssemaka ow'emyaka 56 atudde senior 6 ne mutabani ne basibagana mu bubonero.

Nom1 220x290

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka...

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka ku mukolo gw'okutuuza omulabirizi

Grave1 220x290

Abaffamire ya Nkoyooyo batabuse...

ABA FFAMIRE y’eyali Ssaabalabi­rizi w’ekkanisa ya Uganda, omu­genzi Bp. Livingstone MpalanyiNkoyoyo baguddemu ekikang­abwa...

Sit24 220x290

Abawala babuutikidde abalenzi mu...

Abawala babuutikidde abalenzi mu bya senior 6