TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akwatiddwa ku kubba abantu ATM ku byuma bya bbanka

Akwatiddwa ku kubba abantu ATM ku byuma bya bbanka

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd August 2019

Eyakwatiddwa agamba nti abantu b’abba babeera tebamanyi kukozesa byuma bino nabo ne bajjanga okubayamba olwo ne bababba nga babalekera ATM enfu ne bafuna ebyuma awalala ne baggyayo ssente zaabwe.

Matugga 703x422

Atukwasa ne OC Obotol ku poliisi e Matugga

BYA WASSWA B SSENTONGO

Poliisi e Matugga eggalidde omusajja abadde abba ATM z’abantu ababeera bayingidde okuggyayo ssente mu byuma bya bbanka

Julius Atukwasa 30, ow’e Bushenyi ye yakwatiddwa wabula agambye nti abantu b’abba babeera tebamanyi kukozesa byuma bino nabo ne bajjanga okubayamba olwo ne bababba nga babalekera ATM enfu ne bafuna ebyuma awalala ne baggyayo ssente zaabwe.

Atwala poliisi y’e Matugga, Bosco Patrick Obotol yagambye nti omukwate bagenda kumuggulako emisango egy’enjawulo wabula n’alabula abantu okwewala okumala gakkirizza abantu be batamanyi okubasemberera nga baggyayo ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana