TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Balumbye poliisi bagiggyeko gwe baakutte ne boda enzibe

Balumbye poliisi bagiggyeko gwe baakutte ne boda enzibe

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd August 2019

Balumbye poliisi bagiggyeko gwe baakutte ne boda enzibe

Kot2 703x422

Abatuuze wamu n’abavuzi ba bodaboda ku kyalo Manyangwa ekisangibwa mu muluka gw’e Kabubbu mu Town Council y’e Kasangati bavudde mu mbeera ne balumba poliisi y’e Manyangwa nga baagala kugiggyako agambibwa okuba omubbi wa bodaboda, bamwekolereko.

Omuvubuka ono Ashiraf Elya eyeeyita ‘Geyeena’ agambibwa okubeera omubbi wa bodaboda ye yasimattuse abatuuze. Kiddiridde okukwatibwa lubona ne pikipiki nnamba UDT 270D nga talina bigyogerako kyokka nga baludde nga baginoonya. Kigambibwa nti pikipiki eno nnyiniyo yali yagiwa omuvubuka Abel Busuulwa kyokka n’emubulako era ne batandikirawo omuyiggo.

Aba bodaboda ku siteegi ya Manyangwa be baalabye Elya ng’alina omusaabaze gw’aweese ne bamuyimiriza ne bamukwata ne bamutwala ku poliisi y’e Manyangwa. Aba boda abalala olwakitegedde ne beeyiwa ku poliisi eno nga baagala emubawe bamwekolereko nga bwe baleekaanira waggulu nti baakoowa ababbi ba boda, kyokka poliisi n’ebalemesa.

James Kateregga Ssentebe w’ekyalo Manyangwa B wano we yasabidde abavubuka okwewala okukozesa ebiragalalagala ng’enjaga nti bye bibatuma okukola ebintu ebifaanana bwe bityo era yasabye abavubuka okukola ennyo n’agamba nti bagenda kukola ekikwekweto okunoonya buli muvubuka abantu gwe beemulugunyaako bamuggalire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kim1 220x290

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero...

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero okussa essira ku masomo agalina akatale

Det22 220x290

Ssemaka ow'emyaka 56 atudde senior...

Ssemaka ow'emyaka 56 atudde senior 6 ne mutabani ne basibagana mu bubonero.

Nom1 220x290

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka...

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka ku mukolo gw'okutuuza omulabirizi

Grave1 220x290

Abaffamire ya Nkoyooyo batabuse...

ABA FFAMIRE y’eyali Ssaabalabi­rizi w’ekkanisa ya Uganda, omu­genzi Bp. Livingstone MpalanyiNkoyoyo baguddemu ekikang­abwa...

Sit24 220x290

Abawala babuutikidde abalenzi mu...

Abawala babuutikidde abalenzi mu bya senior 6