TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ba Imam balabuddwaku kuwoowa abaana abatanneetuuka

Ba Imam balabuddwaku kuwoowa abaana abatanneetuuka

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd August 2019

Ba Imam balabuddwaku kuwoowa abaana abatanneetuuka

Gat1 703x422

DISITULIKITI Khadi w’e Lwengo, Sheikh Ibrahim Ismael Kibuule agugumbudde ba Imam b’emizigiti egiri mu Lwengo abagufudde omuze okuwoowa n’okufumbiza abaana abatanneetuuka.

Abalabudde okubasiba awatali kuttira muntu ku liiso kiyambeko abalala abeekwese okukikomya kuba be bavuddeko okuvumaganya eddiini n’obungi bw’abaana abawanduka mu masomero okweyongera. “Kitalo nnyo okusanga Imam omulamba nga ggwe akuliddemu emikolo gy’okuwoowa omwana ow’emyaka 14, bannange obwo bukulembeze nnabaki?!

Lwaki totemya ku b’obuyinza ne bakwata abazadde b’omwana oyo eggwanga ne litereera? Nze mu buweereza bwange ebyo sigenda ku bikkiriza era bw’oba omanyi nti olina omwana gw’oyagala okuwandula mu ssomero omufumbize ng’olulunkanira omwenge ne busukaali bikusaze,” Sheikh Kibuule bwe yalabudde.

Bino yabyogedde alambika abakulu b’amatwale ne ba Imam b’e Lwengo ng’abalaga ebyo by’ateekeddwa okusookerako okukola oluvannyuma lw’okutuuzibwa ku bwa Khadhi obujjuvu wiiki ejja nga August 28. Kino kiddiridde ba Imaam babiri abaakwatibwa nga bawoowa abaana abatanneetuuka mu ggombolola y’e Lwengo nga bano bawerennemba n’emisango.

Bo Abasiraamu baamuloopedde nga bwe bakooye enkaayana z’Obusiraamu n’abasuubiza nga bwagenda okukinogera eddagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...