TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Micheal Muhumuza amanyiddwa nga Ssuula Mpya akubirizza abazadde okuweerera abaana

Micheal Muhumuza amanyiddwa nga Ssuula Mpya akubirizza abazadde okuweerera abaana

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd August 2019

Micheal Muhumuza amanyiddwa nga Ssuula Mpya akubirizza abazadde okuweerera abaana

Lab1 703x422

Micheal Muhumuza ng'ayogerako eri abatuuze

Bya Sofia Nalule
 
ABATUUZE Ku byalo bisatu ebisangibwa mu ggombolola ya Kiganda mu disitulikiti ye Kassanda bayise olukiiko okutema empenda Ku ngeri gye  bayinza okusigala Ku bibanja bya bwe nga tebagobaganyiziddwa.
 
Ebyalo ebyakung'aanye kubaddeko Lwabusaana,Kabowa ne Kigalama.
Mu lukiiko bayise n'omwana waabwe obwedda bwe boogerako nti gwe balina mu essuubi Micheal Muhumuza( Ssuula Mpya) abeewo awulirize obulumi bwe bayitamu.
 
Sentebe we Lwabusaana Jacob Olibokiriho agambye nti ekiseera kye balimu kya bunkenke olwa famire emu Ku kyalo okwagala okuwamba ebyalo bisatu nga kati tebamanyi kiddako.
 
Abatuuze bagambye nti Ku bonna abatunuuliddwa okusengulwa ba bibanja abamaze Ku byalo emyaka egyisoba 20.

Bano balaajanidde Muhumuza okuyingira mu nsonga zaabwe oluvannyuma lwokutukirira omubaka waabwe owa Kassanda South natabayamba.

 
"Nze kenyini sentebe n'atuukirira omubaka waffe Semeo Nsubuga Ku nsonga eno,nankwasa Looya ngayagala obukadde munaana,kyoka nga nabatuuze bange abamu tebalina kya kulya,kati ezo sente zandivudde wa,Jacob Olibokiriho".
 
Bano era basazeewo nga bwebafunye Looya owa bwe nakkiriza okuyimirira mu musango gwabwe Ku bukadde busatu.
Micheal Muhumuza yasitukiddewo n'ategeeza neyeyama okubawa obukadde bubiri,akakadde Kamu yakabawadde mu kaasi.
 
Muhumuza era yayanjulidde abatuuze bazadde be.Yasabye abatuuze okuweerera abaana basobole okubabbulula mu bukadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira