TOP

Aba Bobi Wine baddizza Otafire omuliro

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd August 2019

Aba Bobi Wine baddizza Otafire omuliro

Hit1 703x422

Kahinda Otafiire ku kkono ne Bobi Wine

AB’EKISINDE kya People Power baanukudde minisita Kahinda Otafiire ne bamulabula n’okumulangira nti ebyobufuzi by’azannya byayitako dda.

Aba People Power okuvaayo kiddiridde Otafiire nga ye minisita avunaanyizibwa ku Ssemateeka mu ggwanga okutegeeza nga Gavumenti, bw’etejja kukkiriza omubaka Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwerimbika mu hhombo ya People Power okukola effujjo n’okutaataaganya eggwanga.

Otafiire yasinzidde ku kisaawe kya Boma Grounds e Fort Portal ku Ssande n’alabula Bobi Wine okumanya w’alina okukoma n’okujjukira nti okusinziira mu kulaba kwa Otafiire, Bobi tannafuna bumanyirivu bukulembera ggwanga.

Minisita Otafiire yabadde ku mukola kwe yasisinkanidde abavubuka 300 abaagambye nti baabadde mu FDC ne People Power nga kati baavuddeyo baagala kwegatta ku NRM. Baabadde bakulebeddwa James Birungi eyagambye nti y’abadde akulira FDC mu kitundu kino. “Lino eggwanga twalwana bulwanyi okulizza mu mirembe gye tulina kati.

Yadde abamu kibaluma buli lwe twogera ku kulwana, naye ago ge mazima era tujja kubajjukizanga, kati tetujja kukkiriza bantu kulizannyirako bwe batyo,” Otafiire bwe yakkaatirizza.

Yalabudde Bobi Wine nti asooke yeemalire ku kitone kye eky’okuyimba kuba ye muyimbi mulungi nga bwe yeetegereza bannabyabufuzi abagundiivu bwe beesa empiki z’ebyobufuzi olwo bw’anaaba abiyize, tomanya Bannayuganda bayinza okumutunulamu gye buggya mu maaso ne babaako obuvunaanyizibwa bwe bamuwa okubakulembera.

OTAFIIRE YASIIMUUKA DDA KU MAAPU - PEOPLE POWER Kyokkka omwogezi wa People Power mu ggwanga Joel Ssenyonyi yayanukudde Otafiire nti abantu abaava edda ku mutindo ne maapu mu byobufuzi bonna kati boogera ku People Power ensi esobole okubajjukira.

“Kati bakimanyi nti ensi tekyabajjukira kye bava boogera ku People Power basobole okudda engulu amawulire gabalabe,” Ssenyonyi bwe yagambye. Yayongeddeko nti ebya Otafiire okutiisatiisa nga bwe bajja okukozesa amagye okusuula People Power tebabitidde kubanga amagye gaamulema okukozesa okuwangula Capt. Kahindo eyamukuba mu kalulu ng’ate ye (Kahindo) yali mu kkomera.

Ssenyonyi yagambye nti byonna ebyayogeddwa Otafiire tebibaggya ku mulamwa n’ebigendererwa byabwe bye baliko.

MMANYI BESIGYE NE BOBI WINE OKUBASINGA

– OTAFIIRE Yabajjukizza nti abantu bonna abatinkiza ne Bobi Wine ssaako Col. Besigye basooke bamweyune(Otafiire) kuba abamanyi nnyo bombi okusinga omuntu omulala yenna. Kwe kubategeeza nti omuntu yekka asobola okutwala Uganda mu maaso ye Museveni kuba y’alina okwolesebwa yekka.

Abagambibwa okuba nti baavudde mu FDC ne People Power okwegatta ku NRM yabasomedde Bayibuli n’agamba nti yadde si musomi nnyo, ky’ajjukira okusoma mu Bayibuli kwe kuba nti Katonda bwe yali ayaniriza n’okusasula, abaakeera, abajja ng’omulimu gunaatera okuggwa n’abaasembayo bonna baasasulwa kye kimu, kwe kubagumya nti bonna abavudde mu disitulikiti okuli, Kamwenge, Kyenjojo, Kabalore ne Bundibugyo bonna ba NRM awatali kusosola era baakukungula kyenkanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira