TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebya Museveni ne Kagame bireka wa basajja ba Kayihura

Ebya Museveni ne Kagame bireka wa basajja ba Kayihura

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd August 2019

Ebya Museveni ne Kagame bireka wa basajja ba Kayihura

Lop1 703x422

Pulezidenti wa Angola Joao Lourenço (wakati) ng’ayozaayoza Kagame oluvannyuma lw’okussa omukono ku ndagaano. Ku kkono ye Pulezidenti Museveni owa Uganda.

PULEZIDENTI Museveni ne Paul Kagame owa Rwanda bakkaanyizza ku bintu musanvu bye bagenda okukolako amangu ddala nga buli omu azze ku butaka.

Ebintu bino omusanvu, biri mu ndagaano, Museveni ne Kagame gye baataddeko emikono mu kibuga Luanda ekya Angola mu maaso ga bapulezidenti basatu; João Lourenço owa Angola, Félix Tshisekedi owa DR Congo ne Denis Sassou Nguesso owa Congo- Brazzaville.

Museveni yakomyewo okuva mu Angola ne Kagame naye mutaka ewaabwe era okusinziira ku byakkaanyiddwaako, abakulembeze bombi bakkiriziganyizza okussizaawo mu nkola endagaano.

EBIRI MU NDAGAANO YA MUSEVENI NE KAGAME

1. Buli ggwanga lyakussa ekitiibwa ekisaanidde mu ddala era n’obuteeyingiza mu nsonga za muliraano ezitagikwatako. 2. Okukonya ebikolwa byonna ebiyinza okuleetawo obutabanguko n’obutali butebenkevu munda mu ggwanga lya buli omu ssaako amawanga agaliraanyeewo n’okwewala ebikolwa ebiyinza okwefaanaanyiriza kw’ebyo omuli okuvujjirira ensimbi ssaako okutendeka ebibinja by’abantu abayinza okutabangula emirembe mu bitundu ebyo. 3. Okukuuma n’okussa ekitiibwa mu ddembe lya bannansi b’amawanga gano nga baweebwa eddembe lyabwe ery’obuntu, okubeera mu nsi ezo ssaako okweyagalira mu nsi zaabwe nga bagoberera enkola ya ssemateeka. 4. Amangu ddala okuwa ekyanya n’okuleka emirimu ku nsalo z’amawanga gombi okuddamu okutambula obulungi ng’ensalo ziggulwa, abantu n’ebintu byabwe okuyingira kisobozese enkulaakulana ssaako okukyusa mu mbeera y’obulamu bw’abantu mu mawanga gano Uganda ne Rwanda. 5. Okunnyikiza omwoyo gw’obwasseruganda bw’ekiddugavu (Pan Africanisim) mu bannansi ba Uganda ne Rwanda, enzikiriziganya ey’omuggundu mu kisaawe ky’ebyobufuzi, ebyokwerinda, obutenkevu, ebyobusuubuzi n’ebyobuwangwa, okusiga ensimbi n’okukkiriza kkampuni z’ebyobusuubuzi mu mawanga gombi okukwatagana. 6. Okussaawo akakiiko akanaateeka mu nkola endagaano eno nga kakulirwa baminisita b’ensonga z’ebweru w’eggwanga mu mawanga gano, ssaako baminisita abavunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu mawanga n’abakulira eby’obukessi mu nsi zino zombi. 7. Abakulembeze abaabadde emabega w’endagaano okutegeezebwako ku bigenda mu maaso mu kussa mu nkola endagaano eno. Mu ndagaano eno kyalambikiddwa nti buli ludda lukimanyi bulungi nti luvunaanyizibwa butereevu ssinga wabaawo okumenya endagaano eno ku ludda olwo; ssinga wabaawo obutakkiriziganya oba obutakwatagana kw’ebyo ebyakkaanyiziddwaako mu ndagaano, baakutula ku mmeeza oba okuyita be kikwatako okubatuuza okutuuka ku nzikiriziganya. Ebyakkiriziganyiziddwaako mu ndagaano eno byakutandikirawo okukola amangu ddala. BASAJJA BA KAYIHURA ABALI MU KKOMERA BASIGADDE KU KI? Basajja ba Gen. Kale Kayihura musanvu baakwatibwa amagye mu October wa 2017 ne basimbibwa mu kkooti y’amagye e Makindye nga October 27, 2017 ne babavunaana emisango okuli okuwamba bannansi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...

Tuula 220x290

Mukwano gwange yansigulak

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange...

Funayo1 220x290

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba...

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba...

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...