TOP

Omuyambi wa Museveni bamuloopye

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd August 2019

Omuyambi wa Museveni bamuloopye

Set1 703x422

OMUYAMBI wa Pulezidenti Resty Nakayenga Kiguli, ali mu kattu oluvannyuma lw’okumuloopa ewa Minisita ng’entabwe eva ku ttaka ly’e Bunnamwaya. Bamututte n’ewa Kaliisoliiso wa gavumenti amunoonyerezeeko ku ngeri gye yeeyingizza mu by’ettaka ate ng’obuvunaanyizibwa obwamuweebwa, tebulina kakwate na ttaka.

Omutaka William Serumaga ow’e Ngobe Bunnamwaya ye yawandiikidde Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Obwapulezidenti Ester Mbayo ng’amutegeeza nti ye nannyini ttaka eriri ku Block 265 Poloti 622, 645, 827, 834, 1576 ne 1577 nga yaligula wakati wa 1960 ne 1983; nti kyokka Nakayenga kati akolagana n’abagambibwa okuba abafere mu by’ettaka okukaayanira ettaka eryo n’ekigendererwa eky’okulyezza.

Serumaga mu bbaluwa ye yategeezezza nti abasajja b’ateebereza nti bafere, bakozesa erinnya ly’amaka g’Obwapulezidenti okutiisatiisa abali ku ttaka lino nga baagala baliveeko ate ng’ebiwandiiko biraga nti ettaka lya Sserumaga.

Kigambibwa nti enkaayana zisituse lwa pulojekiti y’oluguudo lw’e Bunnamwaya Abachina lwe baatandise okukola; ng’abakaayana baagala okufuna ssente z’okuliyirirwa ze baamaze okutegeerako nti zijja.

BANNAMATEEKA BAKUNYIZZA OMUSAJJA NAKAYENGA GWE YASINDISE

Nakayenga nga ye muyambi wa Pulezidenti ku nsonga z’abavubuka, abalema n’abatalina mwasirizi yasoose kuweereza bbaluwa eyita abatuuze mu lukiiko bateese ku nsonga z’ettaka eryo ng’agamba nti yatuukirirwa aba famire y’omugenzi Kasalina Nkinzi (Omumbejja) nga bagamba nti ettaka lyabwe nti era Serumaga ne banne abalala okuli Eric Kaggwa Kigozi ne John Baptist Walusimbi nti baalifuna mu bukyamu.

Baalinze Nakayenga mu lukiiko lwe yayise ku Mmande nga tebamulaba, wabula oluvannyuma yasindise omusajja Cyrus Nsubuga eyeeyanjudde ng’omukozi mu maka g’Obwapulezidenti.

Nsubuga yatunudde ebiriroliro nga looya Abdul Katuntu omu ku bannamateeka ba Serumaga amwokya kajogijogi w’ebibuuzo nga batudde mu ofiisi ya Ssentebe w’ekyalo Ngobe, John Ssemakadde Ssekandi.

Katuntu yasoose kugamba Nsubuga nti nga tebannaba kubaako kye boogera, asooke abalage densite ye ey’omulimu ekakasa nti akola mu maka g’Obwapulezidenti ne bitabuka. Nsubuga yabagambye nti, densite y’omulimu yabadde agyerabiddeyo wabula yabadde atambudde ne densite y’eggwanga.

Katuntu yamulemeddeko abannyonnyole ky’akola mu maka g’Obwapulezidenti nga Nsubuga akotese mutwe mu ngeri eraga okusoberwa. Katuntu yagambye nti: Tukooye abafere abasumbuwa abantu ku ttaka; mmwe mwonoona n’erinnya lya Pulezidenti.Katuntu yalemeddeko n’ategeeza Nsubuga nti yabadde amutwala ku poliisi annyonnyole lwe yatandika okukola mu maka g’Obwapulezidenti era Nsubuga n’atandika okwegayirira ng’a bw’agamba nti:

Mukama wange nsonyiwa sigenda kubiddamu. Katuntu oluvannyuma yategeezezza Nsubuga nti yabadde asonyiddwa okutwalibwa ku poliisi kyokka n’amulabula obutadda ku ttaka.

Gye buvuddeko, Nsubuga ng’ali n’omusajja omulala, baagenda e Bunamwaya ne basanga Abachina abaali baleese tulakita okutandika okukola oluguudo ne babalagira okuggya tulakita ku ttaka bunnambiro ne babategeeza nti singa banaddamu okugisanga ng’esenda awantu wonna, bajja kugikumako omuliro.

Nakayenga olukiiko yasooka kuluyita nga August 8, 2019 wabula n’atalabikako ate ne lwe yazzeemu okuyita nga August 20, 2019 era teyalabiseeko; wabula n’akkiriza nti ye yatumye Nsubuga gwe yayogeddeko ng’omu ku bayambi be.

Nakayenga mu bbaluwa eyita olukiiko yali alambise nti, olukiiko lugenda kutuula ku poliisi y’e Ngobe kyokka atwala poliisi olukiiko n’alugaanayo ne baluzza ku Kkanisa ya Redeemed Ngobe nayo abakulira Ekkanisa ne balugaana okutuusa lwe baatudde mu ofiisi ya ssentebe.

SSERUMAGA ANNYONNYODDE BWE YAGULA ETTAKA

Ettaka erisinze okubaako enkalu liri ku poloti bbiri okuli 1576 ne 1577 nga zombi ziwerako yiika 4. Ku poloti 1577, eya yiika bbiri, Abachina abagenda okukola oluguudo lw’e Bunamwaya we baatadde enkambi yaabwe era we bagenda okusinziira okukola oluguudo; nga kati enkaayana zino zigootaanyizza n’enteekateeka z’okukola oluguudo.

Serumaga 80, yagambye nti, ettaka lino, yaligula ku musajja Dauda Ssaalongo. Yasooka kugula yiika bbiri eziri ku poloti 1576 mu 1965 oluvannyuma n’agula ne poloti 1577 mu 1983. Yagambye nti, Dauda yalina yiika ttaano n’amuguzaako nnya ate emu eyasigalawo we baazimba ekkanisa ya Redeemed kati eriraanye Abachina we bazimba enkambi yaabwe.

Yagambye nti, Dauda yasooka kumukolera ndagaano oluvannyuma lw’ekiseera n’amuwa obuyinza okwekutula ku kyapa kye nti kyokka, ekyapa kya Dauda, tekirina we kiragira nti ettaka lyali lya Mumbejja Kasalina Nkinzi. Yagambye nti, famire Nkinzi egezaako kukozesa lukujjukujju okukaayanira ettaka lye batalinaako kakwate, n’agattako nti ebbanga lyonna abadde akozesa ettaka eryo ng’alundirako era yeewuunya okulaba ng’abakaayana bavuddeyo kiseera kino.

Muzeeyi Sserumaga yagasseeko nti, emisango gy’ettaka tebagimaliriza na kutiisatiisa bantu wabula giggweera mu kkooti n’agamba nti, tamanyi lwaki abakaayana mu kifo ky’okukwatagana ne Nakayenga, tebaagenda mu kkooti.

“Nze ne bwe nfa, bwino ajja kusigalawo era aba famire bajja kusigala nga batambuza ensonga okuggyako nga nabo babasse ne babamalawo ate ne bwe babatta, ebiwandiiko tebasobola kubitta.” Serumaga bwe yategeezezza.

NAKAYENGA AYANUKUDDE KU BYE BAMULUMIRIZA:

   Nakayenga bwe yabuuziddwa engeri gye yatuuka okuyingira mu nsonga z’ettaka lino ate ng’obuvunaanyizibwa bwe buli ku nsonga z’abavubuka, abalema n’abatalina mwasirizi, n’ategeeza nti ye ng’omuntu yali amanyi Nkinzi era abazzukulu bwe baamutuukirira ne bamuyitiramu n’asalawo aziyingiremu kubanga yabalaba nga bagwa mu ttuluba ly’abatalina mwasirizi.

Wabula yagasseeko nti ye ne banne bwe baali ku kakiiko ka Presidential Land Task Force, baasigaza obuyinza okukola ku nsonga z’ettaka wadde nga baaweebwa obuvunaanyizibwa obulala.

Kyokka twategeezeddwa nti ekiseera ekyaweebwa akakiiko kyaggwaako dda nnyo era kaaliko abantu nga Hajji Sseddunga, Haji Abdu Nadduli n’abalala, tekakyakola.

Yagambye nti yakitegedde nti baatutte okwemulugunya ewa Minisita n’ewa Kaliisoliiso wa gavumenti nti era alinze ayitibwe okwewozaako. Bwe yabuuziddwa oba eky’okuba nga yayingira mu nsonga zino kubanga yali amanyi Nkinzi tekimuteeka mu mbeera eraga kyekubiira, n’agamba nti ajja kuwuliriza buli ludda era nti waakugenda mu maaso okugoberera ensonga eno okukakasa nti egonjoolwa.

Bwe twatuuse mu famire ya Nkinzi, omu ku bazukkulu be, Diana Doris Nakalembe yagambye nti, ettaka lyabwe lingi lyatwalibwa abantu era bagezaako kulinunula.

Mu nkaayana zino, Serumaga yalaze ebyapa ebimulaga nga nannyini, wabula aba famire ya Nkinzi baategeezezza nti waliwo omuntu waabwe atereka ebiwandiiko ebyo era Bukedde teyafunye mukisa kulaba ku byapa ebyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...

Tuula 220x290

Mukwano gwange yansigulak

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange...

Funayo1 220x290

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba...

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba...

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...