TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd August 2019

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Fut2 703x422

POLIISI ekutte akulira kkampuni etwala abantu ebweru w’eggwanga olw’okuggya ssente ku bantu ng’abasuubizza okubatwala ku kyeyo e Dubai wabula n’atandika okwebuzaabuza.

Bob Natukunda nga y’akulira kkampuni ya Eagle Supervisions esangibwa ku Balituma Road y’akwatiddwa poliisi mu Kampala n’emuggalira n’abakozi mu kkampuni eno abalala musanvu oluvannyuma lw’abamu ku bantu be yaggyako ssente okwekubira endulu.

Bino we bijjidde ng’akakiiko ka Lt Col Edith Nakalema aka State House Anti – Corruption Unit kaakakwata abakulira kkampuni ya Middle East Consultants Limited ku misango gye gimu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti okukwata Natukunda kyaddiridde poliisi okufuna okwemulugunya okuva mu bantu 30 nga bamulumiriza nga bwe yabaggyako ssente n’abasuubiza okubafunira emirimu ebweru w’eggwanga naddala mu United Arab Emirates wabula n’abalimba nga tewali kigenda mu maaso.

“Twatuukiriddwa abantu ab’enjawulo naddala abaggyibwako ssente zaabwe nga babasuubizza okubatwala ku kyeyo era ne boogera kkampuni gye baakwasa ssente era abaserikale ne bagendayo ne bakwata abakozi n’akulira kkampuni eno. Bano baggaliddwa eno ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso,” Onyango bwe yategeezezza.

Yagambye nti abaggyibwako ssente balaze lisiiti kwe baasasulira ng’abasuubizza okugenda okukola ogw’obukuumi baggyibwako obukadde 8, abalongoosa obukadde 4, okukola mu Supermarket obukadde 4 ate abagenda mu ggwanga lya Canada ng’asasula za njawulo.

Yategeezezza nti abaserikale okuva ku poliisi ya Old Kampala ne Nakulabye baagenze ku ofiisi za kkampuni eno wabula Natukunda n’alagira abakozi be babakube wabula bonna baakwatiddwa ne batwalibwa ku poliisi ya CPS.

Fahim Mugisha yagambye nti, ye yasasula ssente mu 2018 nga bamusuubizza okugenda okukola ogw’obukuumi era nga yasooka kusasula 300,000/- ez’okwewandiisa saako 100,000/- ezy’ebbaluwa ya Interpol n’okusasula ssente endala wabula yagenda okulaba nga tewali kikolebwako nga yabayita n’abakozesa yintaviyu kyokka tewali n’omu ku banne yagenda ku kyeyo.

Natukunda yaggaliddwa ku poliisi ya CPS ku fayiro y’omusango eyaggulibwa ku poliisi ya Old Kampala nnamba SD 62/08/08/2019 ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Mu kusooka, Natukunda yatudde n’abamu ku bamulumiriza okubaggyako ssente wamu n’akulira eby’okunoonyereza ku misango mu Kampala n’emiriraano, Johnson Olal wabula ensisinkano eno teyavuddemu kalungi okukkakkana nga Natukunda atwaliddwa mu kaduukulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...