TOP

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd August 2019

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Sab 703x422

POLIISI e Matugga ekutte n’eggalira omusajja abadde abba ATM z’abantu ababeera bayingidde okuggyayo ssente zaabwe mu byuma bya bbanka.

Julius Atukwasa 30, omutuuze w’e Bushenyi okukwatibwa kyaddiridde omukyala okumusanga okumpi ne ATM e Matugga nga ono yabadde alinze kunyaga ATM z’abantu abalala wabula omukyala ayategeerekeseeko erya Sharon bwe yamulabye kwe kukuba enduulu eyasombodde abatuuze kuba yali yamunyagako ATM ye.

Ono yagambye nti abantu abamu babeera tebamanyi kukozesa byuma nga y’ensonga lwaki banyagibwa wabula ng’abasinga obungi babeerako ne ssente ntono. Ono bwe yategedde nti bamuguddemu yayagadde okudduka wabula ne bamugoba ne bamukwata abatuuze kwe kumutwala ku poliisi y’e Matugga.

Atukwasa agambye nti abadde atera kubbira mu bbanka okuli, Centenary, Stanbic n’endala ng’abaamukutte baamusanze ne ATM z’abantu abalala kyokka nazo ne bagenda nazo.

Atwala poliisi y’e Matugga, Bosco Patrick Obotol yagambye nti Atukwasa bagenda kumuggulako emisango egy’enjawulo wabula n’alabula abantu okwewala okumala gakkiriza abantu be batamanyi okubeesemberera nga baggyayo ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.