TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd August 2019

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Lip2 703x422

ABAKULEMBEZE b’omu kabuga k’e Kabembe mu ggombolola y’e Kyampisi e Mukono nga bayambibwako poliisi bakutte omusajja abadde akuumira abavubuka musanvu nga kuliko n’abawala babiri mukazi go n’ekigendererwa ekitannaba kutegeerekeka.

William Nsubuga 35, omutuuze w’e Bombo mu Disitulikiti y’e Luweero yasangiddwa n’abavubuka bano be yaggya mu bitundu eby’enjawulo ng’abalimbye okubatwala e Dubai okubafunira emirimu.

Abavubuka abaasangiddwa mu kazigo kuliko Joseph Bikorwomuhangi yava Mazinga - Sembabule, Florence Nadamba ow’e Busuubizi - Mityana, Slyvia Nansamba w’e Buyaga - Masaka, Justine Mugumya okuva e Kasagama - Lyantonde, Baleke Ssentongo w’e Nsubiro – Sembabule, Richard Kasagga ow’e Kayirikiti - Masaka ne Godfey Zziwa ow’e Kidda - Masaka.

Zziwa, omu ku bavubuka abaanunuddwa, yategeezezza nti Nsubuga yabasanga e Masaka n’abategeeza nga bw’alina emirimu mu Kampala mu kkampuni emu nga buli mwezi baakufuna emitwalo 45 ng’omusaala ssaako emitwalo 5 ez’ensako.

Yabagamba nti bwe banaakuguka obulungi mu mirimu ajja kubatwala e Dubai ku kyeyo. Yayongeddeko nti olwabatuusa mu Kampala, yabateeka ku mmotoka eyagatwala e Namawojjolo n’abawa engoye ez’okutunda ng’abagamba nti bali ku yintaviyu.

Kyokka waayita ennaku ntono n’abaleeta e Kabembe n’abalagira okusigala nga batunda engoye nga bw’akola ku nsonga z’okubatwala ebweru. NSUBUGA ABYEGAANYI Bino byonna Nsubuga yabyegaanyi n’ategeeza nti ye yabaggya mu kyalo ng’abagambye nti bagenda kutunda ngoye.

“Eky’okubatwala ebweru sikimanyi era simanyi gye babiggya.” Ssentebe w’ekyalo kwe baasangiddwa, David Kitamirike yategeezezza nti Nsubuga tebamumanyi era kye baavudde bamukwata

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...