TOP

Abawala 98 banunuddwa ku babadde babakukusa

By Musasi wa Bukedde

Added 24th August 2019

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.

Magaya 703x422

Magaya Mango

Bya MARGRET ZALWANGO
 
ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.
 
Abawala bano nga baggyibwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo baasangiddwa ku kitebe kya kkampuni eya Khaleej Agencies e Namasuba mu muluka gw’e Kabowa. Kigambibwa nti baabadde baatwalibwa mu bukyamu.
 
Poliisi ng’ekulembeddwaamu akakiiko ka State House Anti Corruption Unit baazinzeeko ekifo kino oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti waliwo abawala abagenda okutwalibwa kyokka nga bayita mu makubo makyamu.
 
Ofiisi ya Lt Col Edith Nakalema akulira okulwanyisa enguzi be baafunye essimu nga babagamba nti abawala bano bagenda kufulumizibwa eggwanga olwo ne basitukiramu.
Abawala bano baasangiddwa ng’abamu bamaze okutegeka ebintu byabwe nga balinze kusitula.
 
Baategeezezza nti bagenda kukola bwayaaya mu nsi ez’enjawulo mu Buwalabu gye batwalibwa.
 
Mu nnyumba ya mizigo ebiri gye baabadde basuzibwa ku bufaliso obutono ddala. Kino abakulu kwe baasinzidde okunzingako kkampuni eno.
 
Mango Magaya akulira kkampuni eno yategeezezza nti kkampuni yaabwe erina olukusa okutwala abantu ebweru okukola era nga beewuunya lwaki abakulu bazze ne bazingako kkampuni yaabwe.
 
Ono era yagambye nti abawala babadde basula bulungi ate nga balya bulungi .Yayongeddeko nti bano batwalibwa ku bwereere nga tebagiddwaako ssente wabula n’ategeeza nti engeri bo aba kkampuni gye bafunamu ku bantu be batwalira obwereere tayinza kugyogera.
 
Ku myaka kkampuni eno gyemaze ng’etwala abantu ebweru, baakatwala abawala abasoba mu 1000 era bonna bali bulungi.
 
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiraraano, Patrick Onyango yagambye nti wadde kkampuni eno erina layisinsi, abagikulira baakutwalibwa ku poliisi bakole sitetimenti n’abawala abaasangiddwa ku kkampuni eno.
 
Abawala bonna bateekeddwa mu bbaasi za poliisi ne batwalibwa ku kitebe kya bambega e Kibuli gye baasuze ng’okunonyereza bwe kugenda mu maaso.
Lt Col Nakalema yaggulawo ekikwekweto okuzingiza kkampuni ez’epicupuli ezitwala abantu ebweru n’okubabbako ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.