TOP

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo ne babba

By SHAMIM NABUNNYA

Added 24th August 2019

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka mu kitaba ky’omusaayi ne bakuuliita n’ebintu bye babbye.

Bazigu1 703x422

Bya SHAMIM NABUNYA
ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka mu kitaba ky’omusaayi ne bakuuliita n’ebintu bye babbye.
 
Abatuuze babataayizza omu ne bamukwata ne bodaboda gye babadde bakozesa mu bubbi.
 
Obulumbaganyi buno bwabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokuna e Munyonyo mu
Munisipaali y’e Makindye abatemu bwe baalumbye amaka g’omutuuze e Munyonyo ne batemaatema omukozi we Isa Birimusho.
 
Wakati mu kumutulugunya yalaajanye nnyo bakama be nabo ne bakuba enduulu abatuuze ne babadduukirira era ne bataayiza abatemu ne basobola okukwatako
omu ate abalala ne badduka.
 
Eyakwatiddwa yategeerekese nga John Kasozi nga muvuzi wa bodaboda ku siteegi e Kibuye okumpi n’akatale k’e Kibuye era yasangiddwa n’ebyuma ebikozesebwa okumenya enzigi n’ejjambiya gye baakozesezza okutema Birimusho ne bodaboda
gye yabadde avuga Bajaj Boxer nnamba UAM 412G.
 
Nnannyini maka gano Zulayika Nassali ng’ono musuubuzi wa mu Kampala yategeezezza nti zaabadde essaawa 7:00 ez’ekiro ekikeesezza Olwokuna n’awulira omukozi we Birimusho ng’alaajana naye kwe kukuba enduulu eyasombodde abatuuze ne bataayiza abazigu bano ne bakwatako omu eyabadde ku bodaboda.
 
Abatuuze baabadde batandise okukuba Kasozi emiggo poliisi y’e Salaama we yatuukidde n’ekuba amasasi mu bbanga okubagumbulula nga bano baabadde bataamye nga baagala okumiza Kasozi omukka omusu kyokka n’atwalibwa ku poliisi
y’e Salaama ne bodaboda gye baggyiddeko okubba.
 
MURIRAANWA NAYE BAMUBBYE
Francis Kawuma nga ye muliraanwa wa Nassali yategeezezza nti, ku Lwokusatu
naye ababbi baamulumba ne bamuyingirira nga tawulira ne batwala ssente n’essimu.
 
Agamba nti ne ku mulundi, guno yabadde mu tulo n’awulira enduulu n’akubira ssentebe w’ekitundu kino eyayaguye ne batuuka mangu ne balemesa abazigu bano
okutta abatuuze.
 
Ssentebe w’ekitundu kya Munyonyo, Yasin Ssemakula yategeezezza nti ekitundu kye kibadde kirungi naye kati abazigu abasitudde enkundi babasuza emitima gibeewanise olw’okutya abantu kwe balimu nga balowooza nti, ababbi bagenda kubayingirira
essaawa yonna.
 
Ssemakula yayongeddeko n’ategeeza nti ebikomera bingi e Munyonyo kyokka abantu
abamu tebaagala kubiteekako mataala nga kino kiyamba ababbi okutambula nga bagumu kubanga babeera mu kizikiza ate n’abeebikomera batono ddala abayinza okufuluma nga bawulidde enduulu wadde abaserikale baabwe okuvaayo okugoba ababbi bano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...