TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ezudde ebipya ku yatema omugagga w'e Buloba

Poliisi ezudde ebipya ku yatema omugagga w'e Buloba

By Musasi wa Bukedde

Added 24th August 2019

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga w’e Buloba Charles Kibuuka Mikisa 51, nga August 6, 2019 ne bamutematema ne mukyala we.

Ssenyonjo 703x422

Ssenyonjo

Bya SHAMIM NABUNYA
 
POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga w’e Buloba Charles Kibuuka Mikisa 51, nga August 6, 2019 ne bamutematema ne mukyala we.
 
Ssennyonjo, ng’ali ne banne abalala abagambibwa okuba nga baali basoba mu 20, baayingira mu maka ga Kibuuka agasangibwa ku lusozi Bwota - Nsimbi ne batwala eby'omu nnyumba byonna ne baleka ng’ab'omu nnyumba bataawa.
 
Ebipya poliisi by’ezudde biraga nti, Ssennyonjo y’omu ku babbi bakanywamusaayi ababadde batigomya abantu mu bitundu bya Kampala n’emiriraano.
 
Nga April 21, 2017, ne munne omulala atannategeerekeka mannya, kigambibwa nti baalumba omusuubuzi Mathias Byamugisha eyalina edduuka ku luguudo lw’e Salaama mu Makindye ne bamukuba amasasi ne bamutwalako ssente ate ezimu ne ziyiika mu nsawo y’obuwungu.
 
Polisi ssente yazizuula mu buwunga omulambo mwe gwali gugudde ne bitwalibwa ng’ekimu ku bizibiti.
 
Byamugisha baamulumba mu ttumbi ku ssaawa 9:00 ez’ekiro ne bamukuba amasasi mu dduuka lye oluvannyuma ne badduka ne ssente zonna. Amaduuka ku lw’e Salaama gakola okukeesa obudde era ababbi baakozesa omukisa guno okumulumba nga beekakasa nti alina ssente eziwera.
 
Mu wiiki y’emu mwe battira Byamugisha, kigambibwa nti, baalumba omusajja omulala Emmanuel Ssentongo eyali ava okucakala ne mukazi we ne bamukuba bubi nnyo ne bamutta oluvannyuma ne basobya ku mukazi we.
 
Omukzi naye baamukuba nga bamaze okumusobyako ne baleka ng’ataawa nga bakakasa nti yali waakufa. Ono Katonda yamusaasira n’alama n’aggulawo omusango gw’okumusobyako.
 
Ssennyonjo poliisi emulinako fayiro nnya okuli ez’obutemu bbiri n’ez'okusobya ku bakazi bbiri nga zonna obujulizi obuliko bwakakasiddwa nti ye yazza emisango gyonna.
 
FAMIRE YA BYAMUGISHA EYAGALA BWENKANYA
Nnamwandu wa Byamugisha, Miriam Byamugisha gwe twasanze ku dduuka mwe battira bba ku lw’e Salaama yagambye nti, kirungi nti bba teyafiira bwemage, omutemu eyamutta yamaze n’akwatibwa n’agamba nti ku ssaawa eno, obulamu bwa bba tebukyasobola kudda naye ky'ayagala afune obwenkanya olw’okuttibwa kwa bba.
Yagasseeko nti, Byamugisha yaleka abaana musanvu essaawa eno b’atoba okulabirira n’okuweerayo fiizi ku masomero gye basomera.
 
POLIISI EMUBUUZA EMMUNDU ZE BAKOZESA GYE ZIRI
Abanoonyereza mu poliisi baakizudde nti, Ssennyonjo ne banne balina emmundu bbiri emu kika kya piisito ate endala kika kya SMG/AK47 ze babadde bakozesa mu bubbi era nga ku zino, emu gye battisa Byamugisha.
 
Ku Lwokubiri, Ssennyonjo yaggyiddwa ku poliisi y’e Katwe gye badde akuumirwa n’atwalibwa e Kireka ku SID abakugu bongere okumukunya ayogere emmundu gye bazitereka ne banne abalala gye beekukumye.
 
Emmundu emu, kigambibwa nti baagibba ku mubaka wa palamenti omu (amanya gasirikiddwa) gwe baalinnya akagere ng’agenze okugula malaaya e Makindye, bwe yayingira mu loogi okwesanyusaamu, Ssenyonjo ne banne baamenya mmotoka ne baggyamu ensawo gye baali balowooza nti erimu ssente.
 
Bano mmotoka y’omubaka baagikuba ejjinja ku ndabirwamu n’eyiika ne basikamu ensawo eyalimu ssente n’emmundu eyali ejjudde amasasi era okuva olwo, emmundu eno ababbi y'emu ku ze bakozesa okutigomya abantu.
 
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti, Ssennyonjo alina emisango emirala mingi gye bamunoonyerezaako omuli egy’obutemu, obubbi nga bakozesa emmundu n’ebissi ebirala, okusobya ku bakazi n’emirala.
 
Yagasseeko nti, okunoonyereza kukyagenda ne banne abalala b’abadde akolagana nabo mu bikolwa by’okubba, okutta n’okusobya ku bakazi bakwatibwe. Poliisi essaawa eno, erina fayiro ezisukka mu nnya ku Ssennyonjo n’akabinja ke.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira