TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sudir Ruparelia awangudde omusango ogwa muwawaabirwa bbanka enkulu

Sudir Ruparelia awangudde omusango ogwa muwawaabirwa bbanka enkulu

By Moses Nsubuga

Added 26th August 2019

Sudir Ruparelia awangudde omusango ogwa muwawaabirwa bbanka enkulu

Sud1 703x422

Sudir ne mugagga munne owa Kwagala group Ephraim Ntaganda ng'amuyozaayoza okuwangula omusango

OMUGAGGA Sudhir Ruparelia eyali nnanyini Crane Bank awangudde omusango bbank enkulu gwe yali yamuwaawaabira ng'eyagala bamusasuze ssente ezisoba mu buwumbi 397 zebabadde bagamba nti yazigya mu bbanka ye mu bukyamu.

Omulamuzi David Wangutusi agambye nti Sudhir bamuwaabira mu bukyamu kubanga mu kiseera banka enkulu weyatwalira omusango mu kkooti mu January 2017, Crane bank yali tekyaliwo nga banka ya DFCU yagyeddiza dda mu 2016 ekitegeeza Crane bank gwalinga muzimu nga tegukyasobola kuwawabirwa oba okwewozaako.

Omulamuzi agasseeko nti Crane bank yaggyibwawo nga mu mateeka tekyalina na bya bugagga omuntu byasobola okukaayanira.

Agaseeko okulagira bank enkulu okusasula Sudhir ne kkampuni ye eya Meera Investments ssente zonna zebonoonye nga bewozaako mu musango ogwabayingizibwamu mu bukyamu.

Ye Sudhir olufunye ensala ya kkooti agambye nti kati naye agenda kuggula omusango Ku bbanka enkulu ogw'okuggalawo mu bukyamu bank ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abtexbajjohoima 220x290

Ttiyaggaasi n’amasasi binyoose...

Abbey Musinguzi owa Abtex promotions ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events enjiri y’okununula abasibe abali ku misango...

Joycenakiryannamwanduwakasoziabaanabeyazaalagwebagobawebuse 220x290

Abaana bagobye nnyaabwe mu maka...

Abaana bafuuyidde ebirime bya nnyaabwe n'okumugoba awaka okutuusa ng'abawadde ekyapa kya kitaabwe

Kazimba8webuse 220x290

Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen...

Ssaabalabirizi omulonde, Dr. Stephen Kazimba asuubizza okusigala ng'assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...