TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavumenti esabiddwa okussa abasawo b'ebiwangwa mu malwaliro

Gavumenti esabiddwa okussa abasawo b'ebiwangwa mu malwaliro

By Moses Lemisa

Added 27th August 2019

Gavumenti esabiddwa okussa abasawo b'ebiwangwa mu malwaliro

Lab1 703x422

ABASAWO muddwaliro lye Kayunga basabye gavumenti okuteeka abasawo b’ebiwanga mu malwaliro gaayo okujjanjaba abalina ebirwadde bye biwanga

Bino by'ayogeddwa  Dr  Asaph Tomusange  omukugu   mu kujjanjaba endwadde z’ebiwanga mu ddwaliro e Kayunga  yasinzidde   ku ddwaliro lye Busaana Healthe Centre III mu disitulikiti ye Kayunga mu kujjanjaba  endwadde z’ebiwanga ku bwerere  ng’ali wamu n’abasawo b’e Mulago.

Tomusange yategeezezza nti okunoonyereza kulaga abalina ebirwadde by’ekiwanga bangi wabula mu malwaliro ga Gavumenti teriiyo basawo babijjanjaba  ezimu ku nddwadde  z’ekiwanga kuliko Obutawulira, Okuziyira , Okufuluuta¸Obutawunyirizza , Okulumizibwa mu mimiro , Okulumizibwa omutwe ogw’olutentezi , Ekibobe , okuva amasira mu matu n’ebirala.

Yayongeddeko nti oluvannyuma lw’okukizuula nti  balina obuzibu buno yatandika kaweefube w’okunoonya bazira kisa   ne bamuwa eddagala ly’ekiwanga    ly'akozesa  mu okujjaba  abalwadde b’ekiwanga mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo .

“Abantu bamufuna mpola balina ebirwadde by’eby’ekiwanga naye tebalina bujjanjabi kuba mu malwaliro ga Gavumenti teriiyo basawo babijjanjjaba , tusaba minisituule y’eby’obulamu  etunule mu nsonga eno” Tomusange bwe yategeezezza

Abatuuze b’e Busaana n’ebyalo ebirala bajjanjabiddwa endwadde ezenjawulo nga n’abakyala baakebeddwa Kansa wa nabaana , okukomola , n’ebirala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...