TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eddwaaliro ly'e Kayunga baagala basawo abajjanjaba ebiwanga

Eddwaaliro ly'e Kayunga baagala basawo abajjanjaba ebiwanga

By Moses Lemisa

Added 28th August 2019

Pkunoonyereza kulaga ng’abalina endwadde y'ekiwanga bangi wabula mu malwaliro ga Gavumenti teriiyo basawo bagijjanjaba. Ezimu ku ndwadde z’ekiwanga kuliko obutawulira, okuziyira, okufuluuta¸obutawunyiriza, okulumizibwa mu mimiro, okulumizibwa omutwe ogw’olutentezi, ekibobe, okuva amasira mu matu n’ebirala

Abasawongabagabiraabalwaddeeddagala 703x422

Abasawo nga bagabira abalwadde eddagala.

ABASAWO mu ddwaaliro ly’e Kayunga basabye gavumenti okuteeka abasawo abaakuguka mu biwanga mu malwaliro gaayo okujjanjaba abalina ebirwadde by’ebiwanga.

Bino byayogeddwa  Dr.  Asaph Tomusange  omukugu  mu kujjanjaba endwadde z’ebiwanga mu ddwaaliro e Kayunga.  Yasinzidde   ku ddwaaliro ly’e Busaana Health Centre III mu disitulikiti y’e Kayunga gye bajjanjabidde  endwadde z’ebiwanga ku bwereere  ng’ali wamu n’abasawo b’e Mulago .

Tomusange yategeezezza nti okunoonyereza kulaga ng’abalina endwadde eno bangi wabula mu malwaliro ga Gavumenti teriiyo basawo bagijjanjaba.  Ezimu ku ndwadde z’ekiwanga kuliko obutawulira, okuziyira, okufuluuta¸obutawunyiriza, okulumizibwa mu mimiro, okulumizibwa omutwe ogw’olutentezi, ekibobe, okuva amasira mu matu n’ebirala.

Yayongeddeko nti oluvannyuma lw’okukizuula nti balina obuzibu buno yatandika kaweefube w’okunoonya abazirakisa ne bamuwa eddagala ly’ekiwanga ly’akozesa  mu kujjangaba  abalwadde b’ekiwanga mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo .

 “Abantu bamufuna mpola balina ebirwadde by’ebyekiwanga naye tebalina bujjanjabi kuba mu malwaliro ga Gavumenti teriiyo basawo babijjanjjaba. Tusaba minisitule y’ebyobulamu  etunule mu nsonga eno,” Tomusange bwe yategeezezza

Abatuuze b’e Busaana n’ebyalo ebiriranyeewo bajjanjabiddwa endwadde ez’enjawulo nga n’abakyala baakebeddwa kansa wa nnabaana, okukomola n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...

Godfreybangirana678381 220x290

Kkooti eragidde ofiisa wa poliisi...

KKOOTI enkulu ewozesa emisango gy’engassi eragidde dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okugula ebikozesebwa...

Abamukubaakwatiddwa3 220x290

Poliisi ekutte 30 mu kikwekweto...

Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka buba ng’obukendeeramu mu kitundu...