TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. eggye enta mu kuzimba ebbibiro ly'amasannyalaze ku biyiriro bya Uhuru

Gavt. eggye enta mu kuzimba ebbibiro ly'amasannyalaze ku biyiriro bya Uhuru

By Muwanga Kakooza

Added 28th August 2019

Kamuntu yagambye nti waliwo yinvesita eyali alaze obwetaavu bw’okuzimbe ebbibiro ly’amasannyalaze mu kifo ekyo nga lisuubira okuvaamu amasannyalaze agaweza amaanyi nga megawaati 360 kyokka gavumenti yeetegerezza ensonga n’ebigaana naddala olw’ebyobulambuzi.

Kamuntu3 703x422

Minisita Ephrahim Kamuntu (ddyo) n’omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo nga bali mu lukung’aana lwa bannamawulire.

GAVUMENTI eggye enta mu by’okuzimba ebbibiro ly’amasannyalaze ku biyiriro bya Uhuru ebisangibwa okumpi n’ekifo ekimanyiddwa nga Murchison Falls ku mugga Kiyira ekijjumbirwa ennyo abalambuzi.

Kino we kijjidde ng’abantu bayitiridde okwemulugunya ku nsonga  z’okuzimba ebbibiro lino nga bagamba nti ligenda kusaanyaawo ebiriyiriro n’okuttattana eby’obulambuzi.

Mu ngeri y’emu Uganda eyinza okutandika okuguza South Sudan amasannyalaze oluvannyuma lw’abakulembeze b’eggwanga eryo okulaga obwetaavu

Bino byategeezeddwa mu lukung’aana lwa bannamawulire  olwayogereddwaamu minisita w’ebyobulambuzi, Polof. Ephrahim Kamuntu. Olukiiko lwa baminisita olwatudde ku Mmande lwe lwasazeewo okuggya enta mu by’okuzimba ebbibiro ly’amasannyalaze mu kifo ekyo ekisangibwa mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park erisangibwa e Bunyoro.

Kamuntu yagambye nti waliwo yinvesita eyali alaze obwetaavu bw’okuzimbe ebbibiro ly’amasannyalaze mu kifo ekyo nga lisuubira okuvaamu amasannyalaze agaweza amaanyi nga megawaati 360 kyokka gavumenti yeetegerezza ensonga n’ebigaana naddala olw’ebyobulambuzi.

Ekkuumiro ly’ebisolo omuli ebiyiriro ebyo liri ku kifo kya bwagaagavu bwa kiromita ezisoba mu 3,000. Kamuntu agamba nti lireeta mu Uganda abalambuzi abasoba mu mitwalo ekkumi.

Kamuntu yagambye nti abalambuzi akakadde kamu n’emitwalo 60 be bajja mu Uganda buli mwaka kyokka nga gavumenti eyagala bawere obukadde buna omwaka ogujja we gunaggweerako.

Ate Ofwono Opondo yagambye nti wadde Uganda ekola amasannyalaze mangi okusinga ku bwetaavu bwayo kino tekisaanye kweyibaaza Bannayuganda kuba essaawa yonna amawanga ag’omuliraano gayinza okutandika okugagula wano. N’awa eky’okulabirako  kya South Sudan eyagambye nti eyagala kutandika kugagula wano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...