TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu ensaano y’amamera mu bakyala b'embuto n'aba siikoseero

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu ensaano y’amamera mu bakyala b'embuto n'aba siikoseero

By Musasi wa Bukedde

Added 28th August 2019

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu ensaano y’amamera mu bakyala b'embuto n'aba siikoseero

Hit1 703x422

Nyanzi ng’afukirira amamera, waggulu (ku ddyo), y’ensaano gy’akola mu mamera n’agitunda.

GYE buvuddeko nakulaga engeri gy’oyinza okukolamu amamera n’ofuna ssente ate ng’ogakoledde waka mu kifo ekifunda. Era bangi baatandika okugakola era ngabagulako mu bungi bwonna bwe balina era nkyagagula. Osobola okukola amamera n’ofuna emitwalo 40 omwezi, ekitegeeza nti, eyo nyongereza nnene ku nnyingiza yo ate akatale weekali.

Ekirungi ekigaliko osobola okugakola mu buli nsigo gamba nga kasooli, ebijanjaalo, omuwemba, obulo n’endala. Atagamanyi, gwe mutunsi ogusooka okuvaayo mu nsigo y’ekirime era gwe gukola omulandira. Leero kankulage ku migaso gy’Amamera egy’ebyobulamu nga giva mu nsaano y’amamera.

1 Abantu abatawaanyizibwa amaaso oluusi nga kiva ku sukaali oba endya embi, ebinywa ne bikakanyala oba oluusi ng’omuntu talina kirungo kya vitamiini A ekibaleetera ekifu ku maaso. Kozesa pawuda w’Amamera ng’oteeka akagiiko kamu ku mazzi agabuguma n’onywa.

2 Omuntu agugumuka ekiro oba atafuna tulo ensaano y’amamera ekuyamba okukkakkana ne weebaka bulungi ate jjukira ssinga teweebaka bulungi kikuviraako okulwala. 3 Alimu ‘iron’ ayamba ku balwadde ba siikoseero. Jjukira abalwadde ba siikoseero bafuna obuzibu n’omusaayi wabula amamera gabayamba okuban’omusaayi ogumala ne batafuna bulumi naddala mu biseera eby’obutiti.

4 Gayamba abakyala obutaggwaamu musaayi naddala nga bazaala oba nga bali mu nsonga.

5 Alimu ekirungo kya Vitamiini K, ekiyamba ku bakyala obutavaamu mbuto n’obutalwa mu nsonga. Teeka obugiiko bubiri Emboozi z’omukenkufu Julius Nyanzi owa Prof bioresearch ensaano y’amamera eyamba abakyala ab’embuto n’abalwadde ba siikoseero mu mazzi agabuguma onywe.

6 Ayamba okukuumira ekirungo kya ‘Calcium’ mu magumba ne kitasaasaana mu misuwa kuba wano aleeta obuyinja mu kawago n’ensigo.

7 Era ayamba omuntu obutafuna kukakanyala kwa misuwa ekimuyamba okukuuma omutima n’obwongo nga biramu bulungi, kubanga ‘calcium’ aba asigadde mu magumba.

8 Malungi ku bakyala ab’embuto anti abayamba obutazaala baana baliko bulemu kubanga galimu ‘folic acid’ ow’obutonde. Okugeza obutazaala mwana aliko kituli ku mutima, omulema n’ebirala. 9 Eyeesiba olubuto, kozesa amamera kubanga galimu ebiguwaguwa ebikuyamba okusumulula olubuto ate lutta n’obuwuka obuleeta alusa n’ekiddukano.

10 Gayamba okwongeza ku buwangaazi bw’omuntu era e Pakistan ne Korea gye bagalya ennyo bawangaala. Kyokka gayamba ne ku balwadde ba siriimu okubazzaamu amaanyi.

11 Amamera malungi eri abatalya bintu birimu hhano. 12 Abalina alaje nammwe gabayamba, okugeza abalina alaje w’ennyama, amata n’ebirala.

13 Gooza omusaayi ne gaggyamu amasavu amabi mu mubiri. Wiiki ejja nja kukulaga engeri gy’oyinza okukola ehhano okuva mu mamera ga doodo.

Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch asangibwa ku Equatorial Mall edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo