TOP

Bukedde awezezza emyaka 25

By Cathy Lutwama

Added 29th August 2019

Leero Bukedde ewezezza emyaka 25 okuva lwe yaggulwawo nga 29 August 1994.

Congs 703x422

NKUZE, era nsajjakudde. Abampitanga akapapula kati bampita lupapula, ndi muwabuzi, n’abaana nzadde. Laba bwe nsajjakudde!
 
Nze Bukedde, olupapula lwo oluganzi, olupapula olwesigika nga lwa mulembe. Leero mpezezza emyaka 25 nga nkola n’amaanyi okusobola okumanyisa, okusomesa n’okusanyusa ggwe omusomi wange omulungi.
 
Okusula nga ntunula n’okukakasa nga nkumanyisa buli ekigenda mu maaso mu ggwanga, mu butuufu bwakyo awatali kyekuubira kye kimu ku bintu bye nkoze n’obwagazi, obunyiikivu wamu n’obukugu okumala emyaka gino 25.
 
Bw’ondaba kati nga ntambuza amaanyi ag’ekivubuka tolowooza nti, nakulira munda mu lubuto. Nedda, nange naliko omuto ne bandera, ne njavula ne ntambula okutuusa kati w’ondabira mu maanyi ag’ekivubuka.
 
Okufaanana n’omwana yenna azaalibwa, amakuuli, enkonge n’ebisirikko bye mpiseemu okutuuka wano bisinga n’obugulu bw’eggongolo obungi naye kirungi naawe okubimanya naddala nga naawe olina omwana (soma bizinensi) gw’oyagala okuzaala.
 
Kye nkakasa kiri nti, newankubadde nga si nze lupapula olusinga obukulu wano mu ggwanga, olugendo lwange olujjudde okusoomooza, essuubi n’obumalirivu naawe lwandikuyamba okusenvula okuva w’oli olw’ebyokuyiga ebirulimu.
 illiam ike eyali omukuhhaanya owoku ntikko eoffrey ulubya wakati ne aurice sekawungu ku ddyo awuliriza avid illington eyaleetebwa okuva e ungereza okuyusa endabikia ya ukedde William Pike eyali omukuhhaanya ow'oku ntikko, Geoffrey Kulubya (wakati) ne Maurice Ssekawungu (ku ddyo). Bawuliriza David Billington eyaleetebwa okuva e Bungereza okuyusa endabikia ya Bukedde.

 

 
OKUSALAWO KU BUKEDDE KWATWALA EMYAKA ETAANO
Tutandike? Tetunnatuusa…Tutandike?...Tulindeko… Naye olupapula lw’olulimi Oluganda lunaakola? Kale katugezeeko….
 
Olwo nno lwe lwali oluyimba olujjudde ebibuuzo n’okubuusabuusa okuviira ddala mu 1989 okutuuka mu 1994 nga bazadde bange bakyatetenkanya.
 
Nga bwe bakyafumiitiriza, baazaaliramu bakulu bange abalala okuli; Orumuri, Etop ne Rupiny.
Nga bamaze okweteesa, nange baasalawo nzaalibwa mu 1994.
 
Eky’okubeera nga kati nze lupapula olusinga okutunda mu ggwanga nga ntunda kkopi eziwerera ddala 34,913 buli lunaku oluusi n’okusukkamu, tekitegeeza nti nkituuseeko lwa kubiibiitibwa. Nedda, kubadde kutoba!
 
Nga mukulu waffe 'New Vision' amaze okuzaalibwa nga n’ebibala by’obuwanguzi bwe bimaze okusensera eggwanga, muzadde waffe, akakiiko akali kaddukanya New Vision Printing and Publishing Corporation kaatuula ne kateesa ku ky’okuteekawo empapula eziri mu nnimi ennansi.
 
Kino kyali kirowoozo ky’omu ku bakadde baffe, James Tumusiime eyali amyuka akulira olupapula lwa 'New Vision' mu kiseera ekyo. Kyokka wadde bazadde baffe amaka gaabwe gaali kuno, okunzaala tekwabajjira mangu kubanga bangi baalinamu okubuusabuusa.
 
Naye ekiseera kyatuuka, ne basalawo. Kino nno, n’okutuusa kati muzadde waffe Tumusiime bw’abeera anjogerako, andaba nga ekimu ku birooto bye ebyatuukirira.
 
Anti wulira bw’agamba: “Bukedde kyali nga ekirooto ekyali ewala ennyo. Nateesa wabeerewo empapula ez’ennimi ennansi nga mmaze okukizuula nti abantu bangi baali bayaayaanira okumanya kyokka ng’olupapula ffe lwe twalina nga kkampuni lwali mu Lungereza, olulimi abantu abasinga lwe baali batamanyi nnyo mu kiseera ekyo.
 
 ames umusiime eyaleeta ekiteeso okutandika olupapula lwa ukedde James Tumusiime eyaleeta ekiteeso okutandika olupapula lwa Bukedde.

 

Ekiteeso kino nakireeta mu mwaka 1989 era nga twatandika n’olupapula lwa Orumuri mu 1989 eri abo aboogera Orunyakitara mu bugwanjuba bwa Uganda, Etop lw’Abateeso nalwo lwatandikibwa mu 1990 olwo Rupiny n’atandikibwa mu 1993 mu lulimi Oluluwo.
 
Olupapula lw’olulimi Oluganda nalwo lwali lumu ku ze nali ntadde mu kiteeso kyange okuviira ddala ku ntandikwa wadde ng’ate telwatandikirawo.
Empapula z’ennimi ennansi ezaali zitandikiddwa zali zifuluma omulundi gumu mu wiiki era nga za miko ena.
 
Wano abakulu we baasinzira okusalawo nti olupapula lw’olulimi Oluganda, ka luweebwe obudde obumala mu kuluteekateeka lusobole okufaananako New Vision eyali afuluma buli lunaku ate nga muzito", Tumusiime bw’anyumya ku mazaalibwa gange.
 
Wabula, mu kunoonyereza ku buzaale bwange, era nakizuula nti, okwagala okukola olupapula olunene si ye yali ensonga yokka wabula nti, bazadde bange abamu baalina okutya nti oboolyawo sibeere wa njawulo ku mpapula endala ez’olulimi Oluganda ezaaliwo mu kiseera ekyo.
 
Endowooza eno, ne mu maka gye nzaalibwa yaliyo nga beebuuza oba naasobola okwetantala engabo (Ngabo) eyaliwo mu kiseera ekyo ne ngiyitako okulondoola ensonga za Buganda awatali kyekubiira ate ng’obubaka mbuweereza mu lulimi Oluganda.
 
Nze nno, nali wa njawulo. EraTumusiime yalina okukkiriza nti nsobola okuba ow’enjawulo. Ne bw’ontunuulira olwaleero ondaba nga ndi wa njawulo nnyo.
 mukuhhaanya wa ukedde eyasooka aurice sekawungu ku kkono ngali ku kabaga ka ukedde akaasooka nga bawezezza emyaka wookusatu ku ddyo ye etty ambooze kati mubaka wa unisipaali ye ukono ne eorge awule owuukubiri ku kkono Omukuhhaanya wa Bukedde eyasooka Maurice Ssekawungu (ku kkono) ng'ali ku kabaga ka Bukedde akaasooka nga bawezezza emyaka. Owookusatu ku ddyo ye Betty Nambooze kati mubaka wa Munisipaali y'e Mukono ne George Kawule (owuukubiri ku kkono).

 

 
BANTUUMA ERINNYA
Nga bazadde bange bamaze okusalawo okunzaala, baatandikirawo okunoonya erinnya lye banaantuuma, wadde nali sinnazaalibwa! Bakkiriziganya, erinnya limpeebwe abaali bagenda okundera (abaali bagenda okunsoma).
 
Bazadde bange baasaba abantu baleete erinnya era nti anaalireeta yali waakuwangula 500,000/-. Bangi baatandika okuntuuma amannya era mu mannya agaaleetebwa mwe mwali ne Bukedde wabula nga lino abaaliwaayo bali bawerako.
 
Ng’erinnya lifuniddwa, ate kyazuulibwa nga nga waliwo eyali yalituumwako kyokka nga mu kiseera ekyo yali takyalikozesa, baamusasula erinnya n’alimpa. Bwentyo bwe nneewangulira erinnya lino egganzi lye mpitibwa leero.
 
BANTEEKATEEKERA EMYEZI 6
Bulijjo batukubiriza okuzaala abaana nga tweteeseteese bulungi era nange baanteekerateekera emyezi mukaaga.
 
Bazadde bange baalabawo obwetaavu bw’okufuna abantu ab’enjawulo abanaayamba mu kuzaalibwa kwange nveemu omuntu ow’obuvunaanyizibwa gwe weenyumirizaamu leero.
 
Bwe batyo, balonda ttiimu ey’abantu 9 bakole ku kuzaalibwa kwange. Yali ekulirwa Mw. Maurice Ssekawungu nga ye mukuhhaanya n’amyukibwa George Kawule (ono mu kiseera kye kimu nga y’avunaanyizibwa ku mawulire agafuluma).
 
ABATANDISI abalala abaali ku ttiimu eno kwaliko; abawandiisi 3; Geoffrey Kulubya (ng’ono yali muwandiisi wa byamizannyo), Ahmed Kateregga Musaazi ne Teddy Busuulwa Babirye nga bombi baali bawandiisi ba mawulire.
 
Abalala 5 baali bavvuunuzi n’abasunsuzi nga kuno kwaliko; Margaret Nankinga, Paul Kaddu, Andrew Kirabira, Mulumba Matia Ssebuttemba ne Andrew Kaggwa.
Bano bonna baali bayivu era okusinziira ku ‘muzaalisa wange’ Geoffrey Kulubya akulira empapula z’ennimi ennansi , kino kyampa omusingi omuggumivu okuviira ddala ku ntandikwa.
 
Wuuno wulira by’ayogera ku kuzaalibwa kwange: “Olupapula lw’amawulire lwetaaga ssente. Abaalutandika baasooka kulowooza ku nkola enzibu ennyo era ng’abasunsuzi basooka kubakozesa nga bavvuunula amawulire agali mu Lungereza.
 
Kino kyawa nnyo Bukedde enkizo kubanga mu kiseera kye kimu baali bafuna okubangulwa mu mawulire. Bukedde yazimbibwa ku basajja n’abakazi nga bonna bayigirize era, olw’okuba nti, omuntu omuyigirize tomala gamuwugula eyo ebadde mpagi luwaga mu lugendo lwaffe", Kulubya.

 

 
OKUTEMBEETA OMWANA ATANNAZAALIBWA
Abantu omwenda baamala ebbanga nga bategeka bwe naazaalibwa. Omu ku bo, Andrew Kirabira yantegeezezza nti baamala ebbanga lya myezi 6 nga bajja ku zzaaliro (soma kitebe kya New Vision) kyokka nga sizaalibwa wabula nga beegeza mu bwe nnaazaalibwa! (Nga tewali ggulire lye bafulumya).
 
Nti, omulimu omukulu gwe baakolanga, gwa kunoonyereza mu bantu ku kye bandyagadde okulaba (okusoma) ku mwana Bukedde n’okukuhhaanya ebirowoozo eby’enjawulo. Kuno baagattako okuwandiika emboozi mu lupapula lwa New Vision ng’emu ku ngeri y’okubateekerateekera eddimu ly’okuleeta ku nsi omwana Bukedde.
Herbert Lumansi avunaanyizibwa ku bifananyi ebifulumira mu katabo ka Bukedde kati era nga y’omu ku bawandiisi abaasookera ddala anyumya nti omulimu guno gwagenda bukwakku:
 
“Ng’oggyeeko wano mu kibuga wakati, Masaka kye kitundu ky’eggwanga ekirala omwana Bukedde gye yayanirizibwa ennyo. Mu mwaka gwa 1994, eyali mukama wange yansindika e Masaka era nateekebwa ku ttiimu eyatalaaganga ebitundu bya Buganda ebitali bimu.
 
Eno twazimbayo ofiisi era nga ye yali ekuhhaanya amawulire okuva mu bitundu bya; Masaka, Rakai, Kalangala ne Ssembabule nga nze nali ngikulira
Twagenda tusomesa abantu ebikwata ku mwana Bukedde ebimulimu n’engeri gy’awandiikibwamu. Okwo twagattako okuzimba enkolagana n’abakulembeze b’ebitundu ekintu ekyatuyamba okutandika n’omusingi omugumu mu kisaawe ky’amawulire.
 
Mu kutambula kuno, amawulire ge twafunangayo gaafulumiranga mu lupapula lw’okugezesa olwafulumizibwanga buli lunaku naye nga terutundibwa. Bwe tutyo, tugenda okuggya omwana Bukedde mu leeba, nga tumaze okuteekateeka ettu lyaffe bulungi n’okwekakasa nti abanaamulabako bajja kumwagalirawo", Herbert Lumansi bw'ayongerako.
 
Nga abatalaaga ebitundu by’eggwanga ebitali bimu batalaaga, abalala baasigalanga mu nju nga bagiteekateeka. Mu ngeri eno, okumala wiiki nnamba okuva nga August 19, 1994, nga ttiimu eno yeegeza mu kunzaala (baafulumyanga olupapula buli lunaku naye nga terutundibwa era nga terufuluma bweru wa kkampuni okutuukira ddala nga August 25,1994 okufulumya kkopi ezitali za kutunda lwe kwayimirizibwa.
 
Mwalingamu amawulire aga wano ageebweru, ebyemizannyo n’ebbaluwa z’abasomi ezaali ziweerezebwa ku kasanduuko nnamba 9815 era nga kaali ka miko 12 be ddu.
Nategekebwa, nayooyootebwa, n’akazigo ne nsiigibwa era ku makya ga Mmande nga August 29, 1994 ne ntonnya mu ggwanga lyonna anti nga ku nze kw’okuba amaaso n’emiko 16 be ddu!
 
NNYANJULIBWA ERI EGGWANGA N’ENSI YONNA
“Olupapula lw’Oluganda olusinga okusomebwa” Bino bye bigambo bye bannyanjuza mu bantu nga nnaakazaalibwa! Kino kye kiruubirirwa kye nzize nnwana okutuukako nga leero we mpeereza emyaka 25 nga nze lupapula lw’amawulire olusinga okusomebwa mu Uganda.
 
Engeri gye baali bateeseteese abantu, bangi baali bannindiridde. Erinnya bampa lya “Bukedde” era nange natandikirawo n’amaanyi okuzuukusa eggwanga nti wattu BUKEDDE.
 
Lyali ssanyu jjereere era naganja nnyo n’eri Bannayuganda Abaganda n’abataali. Ku nnusu 400/- zokka walina omukisa okunneetwalira ewuwo.
 
Maurice Ssekawungu eyali omukungaanya wa Bukedde eyasookera ddala anyumya nti , ku lunaku lwe bannyanjula, saasigala ku luguudo.
 
Muzadde wange, Tumusiime eyali awomye omutwe mu kulaba nga nzaalibwa yalambika nga bwe nali nzize okugatta ebikonge ekintu ekyampa enkizo n’obuganzi okwetooloola eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...

Owoyesigire 220x290

Ababbi balumbye Klezia ya Yowana...

ABABBI basatu balumbye ekifo awaterekebwa ebirabo ku Klezia ya Yowana Maria Mzee ku Lubaga Road n’amajambiya nga...

Abtexbajjohoima 220x290

Ttiyaggaasi n’amasasi binyoose...

Abbey Musinguzi owa Abtex promotions ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events enjiri y’okununula abasibe abali ku misango...

Joycenakiryannamwanduwakasoziabaanabeyazaalagwebagobawebuse 220x290

Abaana bagobye nnyaabwe mu maka...

Abaana bafuuyidde ebirime bya nnyaabwe n'okumugoba awaka okutuusa ng'abawadde ekyapa kya kitaabwe

Kazimba8webuse 220x290

Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen...

Ssaabalabirizi omulonde, Dr. Stephen Kazimba asuubizza okusigala ng'assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda